Ekibinja kya Uganda ekyabamusaayimuto 25 kisiibuddwa ku nkya ya leero okwolekera ekibuga Darkar ekya Senegal gyebagenda okwetaba mu mpaka za Olympics owabavubuka eza Youth Olympic Games ezomulundi ogwokuna. Abasiibuddwa kubaddeko abawala munaana nabalenzi 17 saako abatendesi, abasawo nabakungu abalala.
Omukolo ogubasiibula gubadde ku National Council of Sports (NCS) mu Kampala nga gukoleddwa ssaabawandiisi wakakiiko ka NCS Dr. Bernard Ogwel nga ali wamu ne president wa Uganda olympic comittee Dr Donald Rukare.
Uganda yaakwetaba mu mizannyo musanvu okuli emisinde, Rugby, obugaali, Badminton, Table tennis, okuwuga, n’okuvuga amaato.
Abaddusi kuliko Baskaline Cherotwa (1500m), Racheal Chelimo(2000m), Keren Chelimo (3000m) Michale Kibet (2000m) ne Timothy Cheptoek (800m). Aba Table tennis kuliko Jemima Nakawala ne Joseph Ssebatindira, Morcel Otim wa kuvuga maato, Ramia Bukenya wa badminton ate Ali Ssali wa bugaali. Abawuzi kuliko Arthur Mwase, Peterson Inhesiko, Mary Peyton Ssuubi ne Marie Mbanga. Ekibinja kya Uganda kikulembeddwa Lydia Dhamuzungu nga ono yeyasoose okugenda e senegal okuteekerateekera abazanyi webanatuukira.

Bamusaayimuto nga basimbulwa
ssaabawandiisi wakakiiko ka NCS Dr. Bernard Ogwel ayanjudde enteekateeka za gavumenti okuyambako ebibiina byemizannyo mu kukulakulanya ebitone ebyenjawulo nga bayita mu kwongeza ku nsimbi eziweebwa ebibiina bino. Ye president wa UOC Dr Donald Rukare akubirizza bamusaayimuto okukuuma empisa nga batuuse mu mizannyo nokuwanika bendera yeggwanga mu ngeri eweesa ekitiibwa.
Abanaakola obulungi mu mpaka zino basuubirwa okuteekebwa mu nteekateeka zemizannyo gya olympics egya 2018 egigenda okubeera mu kibuga Los Angelles ekya Amerika.
Uganda ezze yeetaba mu mpaka zabamusaayimuto okuviira ddala wezaatandikibwawo mu 2010 mu ggwanga lya singapore.
Omugatte Uganda yaakawangula emidaali etaano mu mpaka essatu ezisembyeyo okuli eza singapore (2010), china (2014) ne Argentina (2018).
emizannyo gitandika ku lwamukaaga lwa wiiki eno nga ennaku zomwezi 31 gikomekkerezebwe nga 13 omwezi ogwa November.