Ebyemizannyo

Avumiridde bassita

EYALIKO kapiteeni wa ManU, Gary Neville alangidde abazannyi baayo amalala, okwemanya, obucakaze n'okulya obubi.

Neville
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EYALIKO kapiteeni wa ManU, Gary Neville alangidde abazannyi baayo amalala, okwemanya, obucakaze n'okulya obubi.
"Nsiiba mbalaba mu kibuga Manchester kuba mwe mbeera. Bazimba okukira Kabaka Phillip, beebaka matumbibudde, balyankuza, tebeeyisa nga bapulofeesono n'akamu,"

Neville bwe yabalumbye. Yawaanye Carrick nti, "Mugezi, mwesimbu era amanyi ky'akola naye abazannyi be bamulemesezza."

Tags: