Ebyemizannyo

Empaka z'abavubuka ez'ensi yonna eza youth olympic games ziggyibwako akawuuwo ku lwomukaaga luno mu kibuga Dakar

Empaka z'abavubuka ez'ensi yonna eza youth olympic games ziggyibwako akawuuwo ku lwomukaaga luno mu kibuga Dakar ekya senegal. Omukolo oguggulawo gugenda kubeera mu kisaawe kya Abdoulaye Wade Stadium ekisangibwa mu kibuga Diamniadio. Ekisaawe kino ekituuza abantu emitwalo 50,000 kyekikyaza nemipiira gya tiimu yeggwanga eya senegal eyomupiira.

Abazannyi nga bali mu kutendekebwa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Empaka zabavuvuka ezensi yonna eza youth olympic games ziggyibwako akawuuwo ku lwomukaaga luno mu kibuga Dakar ekya senegal. Omukolo oguggulawo gugenda kubeera mu kisaawe kya Abdoulaye Wade Stadium ekisangibwa mu kibuga Diamniadio. Ekisaawe kino ekituuza abantu emitwalo 50,000 kyekikyaza nemipiira gya tiimu yeggwanga eya senegal eyomupiira.
Uganda yatutte abavubuka 25 nga bano baakwegatta ku balala abasoba mu 2700 okuva mu mawanga agenjawulo ku mukolo gwokugulawo empaka.  

Okutendekebwa

Okutendekebwa


Bamusaayimuto ba uganda nga bakulembeddwa kapiteeni wa tiimu Joseph Ssebatindira azanya table tennis baatandika okutuuka mu kibuga dakar awagenda okubeera empaka ku lwokubiri lwa wiiki eno.
Abamu ku baasookayo kwaliko omuvuzi wamaato Marcel Otim awangaali mu USA,  abawuzi Zara Marie Mbanga, Peterson Inhensiko Peyton Mary Suubi, Arthur Mwase ne Jemimah Nakawala abasooka okumalirizo ebigezo bya siniya eyokuna.
Uganda yaakuvuganya mu mizannyo musanvu okuli okuwuga,rugby sevens, emisinde, obugaali, badminton, table tennis and n’amaato.
Omuvuzi weryato Marcel Otim, nabazanyi ba badminton okuli Jemimah Nakawala n’owa table tennis Joseph Ssebatindira bebagenda okusooka munsiike olunaku lwa ssande nga bamaze okubawa bebazanya nabo.

Okutendekebwa

Okutendekebwa


Yadde nga ekibugumu kingi mu kibuga Dakar, eyakulemberamu ekibinja kya uganda Lydia Dhamuzungu mugumu nti uganda yaakukola bulungi ku mulundi guno oluvannyuma lwokutuuka mu budde nebamanyiira embeera.
Uganda ezze yeetaba mu mizannyo gyabavubuka egya olympics egisembyeyo nga wonna omugatte yaakawangulatyo emidaali ena okuli egyekikomo ebiri, ogwa silver gumu nogwa zaabu gumu gweyawangula mu 2018.
Omuddusi sadar Chelangat yekka yeeyakawangulira Uganda omudaali ogwa zaabu ga guno yagufuna mu mbiro eza mmita 3000 ezaali mu kibuga Buenos Aires ekya Argentina.
Tags: