Ebyemizannyo

Uganda yafunye obuwanguzi bwayo mu mpaka za Table Tenis ow'abawala mu Youth Olympics Games e Dakar

Uganda yafunye obuwanguzi bwayo mu mpaka za Table Tenis ow'abawala mu Youth Olympics Games e Dakar 

Jemima Nakawala ng'attunka ne Joanita Barteye okuva mu Ghana
By: Julius Kafuluma, Journalist @New Vision

Egyazanyiddwa 
Table Tennis Mu bakyala 

Barteye Joanita (GHA) 0-3 Jemima Nakawala UGA)
Mu basajja 
Vegas Jonathan (VEN) 3-1 Joseph ssebatindira (UGA)

Mu kuwuga
Men’s 100m freestyle Heat 4/10
1. Alonso Martinez (PUR) 54:64
2. Arthur Mwase (UGA) 55:47
3. Inhensiko Peterson (UGA) 56:25
Women’s 200m Breastroke Heat2/2
1. Ishikawa mana (JAP) 2:29:37
2. Paier Lili ( AUT) 2:35:43
3. Omri Ilef (TUN) 2:45:43
6. Mbanga Zara (UGA) 2:56:89

Rugby sevens 
France 58-0 Uganda 
Uganda 0-49 Argentina 
Japan 41-7 Uganda 

Empaka zabavubuka eza Youth Olympics Games zaatandikidde mu bbugumu mu gimu ku mizannyo egyagguddewo ku lwomukaaga lwa wiiki ewedde mu kibuga Dakar ekya Senegal. 
Uganda kyadaaki yafunye obuwanguzi bwayo obusooka mu muzannyo gwa table tennis owabawala oluvannyuma lwa Jemima Nakawala okukuba munna Ghana Joanita Barteye obugoba 3-0. Nakawala kati asigazaaayo omuzannyo gumu ogwekibinja gweyetaaga okuwangula okusobola okutangaaza emikisa gye egyokuva mu kibinja.
Mu balenzi Joseph ssebatindira yawanduse mu mpaka oluvannyuma lwokukubwa omuzannyo gwe ogwokubiri ogwomuddiringanwa. Ssebatindira yakubiddwa munnansi wa Venezuela Vegas Jonathan obugoba 3-1 nga Kati asigazaayo omuzannyo gumu ogwekibinja.
Mu muzannyo gwokuwuga Arthur Mwase ne Peterson Inhensiko baakutte ebifo byakumwanjo mu mpaka eza mmita 100 eza freestyle. Arthur tamale mu kifo kyakubiri oluvannyuma lwokuwugira sikonda 55:47 ate nga Inhesiko yakutte kyakusatu nga yawugidde sikonda 56:55.
Uganda tebyagitambulidde mu muzannyo gwa rugby nga yakubiddwa emizannyo gyebibinja gyonna esatu. Argentina yaguddewo ne Argentina nebakuba 49-0 ate Bufaransa nekuba Uganda 58-0. Omuzannyo ogwasembyeyo Uganda yalabise nga enaaguggyamu ekyamaanyi  wabula Japan amaze nebakuba 41-7.

Tags: