Ebyemizannyo

Arthur Mwase awadde Uganda amaanyi mu mpaka za Olympics w'abavubuka e Daker

Arthur Mwase awadde Uganda amaanyi mu mpaka za Olympics w'abavubuka e Daker

Mwase ng'awuga
By: Julius Kafuluma, Journalist @New Vision

Mu kuwuga
Men’s 400m freestyle 

1. Arthur Mwase (UGA) 4:28:12
2. Al Hassan Hamed ( OMA) 4:29:80
3. Okumu Zack (TAN) 4:42:92
Women’s 100m breaststroke 
1. Nguyen Thuy Hien (VIE) 1:12:45
2. Leekitchakorn Nathahito (THA) 1:13:02
3. Shaat Alma (PLE) 1:17:65
5. Ssuubi Mary Peyton (UGA) 1:20:12

Badminton
Women’s singles Group 8
Parab Rajvi (GBR) 2-0 Ramiah Bukenya (UGA)
Ramiah Bukenya (UGA) - Poperezhai Varvara (UKR)

Table Tennis 
Men’s singles preliminary round 
Robert Istrade (ROU) 3-1 Joseph ssebatindira (UGA)
Women’s singles preliminary round 
Das Syndrela (IND) 3-0 Jemima Nakawala (UGA)

Rugby sevens 
Men’s placing 5th -6th place Match 
Germany 22-0 Uganda 
Men’s placing 7th - 8th place match 
Senegal 10-5 Uganda

Munnayuganda Arthur Mwase ayongedde okukola obulungi mu mpaka za Olympics ezabavubuka ezigenda mu maaso mu kibuga Dakar ekya Senegal.
Mwase yawangudde omutendera ogwa freestyle mu mmita 400 oluvannyuma lwokuwugira edakiika 4:28:12. Wabula ye munnayuganda omulala Mary Peyton Ssuubi yakutte ekifo kyakutaano mu mutendera ogwa breaststroke mu bawala nga yawugidde edakiika 1:20:12.
Mu muzannyo gwa table tennis bannayuganda bonna bawanduse oluvannyuma lwokukemererwa okuva mu bibinja. Jemima Nakawala yakubiddwa omuyindi Das Syndrella obugoba 3-0 mu muzannyo ogwebibinja ogwasembyeyo. Joseph ssebatindira Naye yakubiddwa omuzannyo ogwokusatu ogwomuddiringanwa 3-1 nga yakubiddwa Robert Istrate enzalwa ze Romania.
Mu badminton Ramiah Nabukenya yakubiddwa omuzannyo ogwokubiri ogwomuddiringanwa nawanduka mu mpaka zomwaka guno nga yakubiddwa Parab Rajvi enzalwa za Bungereza obugoba 2-0.
Mu muzannyo gwa Rugby Uganda yamalidde mu kifo Kya munana oluvannyuma lwokukubwa abategesi aba Senegal 10-5. Nga tenazannya Senegal Uganda yasoose kukubwa Germany 22-0 mu gwokulwanira ekifo ekyokutaano. France yawangudde omudaali gwa zaabu nga yakubye South Africa ku final 26-19 ate Argentina nekwata ekifo kyakusatu.

Minisita Ogwang ne Ogwel bakyaddeko mu nkambi ya Uganda.
Minister webyemizannyo Peter Ogwang yatuuse mu kibuga Dakar ekya Senegal okulaba engeri tiimu za Uganda gyezikolamu. Ogwang yatuuka ku bbalaza yakubye wiiki eno olweggulo nga talia wamu nabakungu ba NCS abaakulemberwa ssentebe Ambrose Tashobya ne ssaabawandiisi Bernard Ogwel.
Ogwang yategezezza nga okujja kwe bwekutagenda kulaba bazanyi ba Uganda kwokka wabula nokubaako byebeetegereza ku ngeri Senegal bweyategeseemu emizannyo nga Uganda yeetegekera okukyaza empaka za AFCON omwaka ogujja nemizannyo gya All African games mu 2031.
Ogwang yatenderezza Senegal olwengeri gyerondoolamu ebitone ebiba bizuulidddwa ekigifudde eggwanga eroding okutunda abazanyi abebitone ku lukalu lwa Africa.
Bannayuganda bakomawo mu nsiike Olunaku olwenkya nga abawuzi Peterson Inhensiko ne Mbanga Zara bakomawo okulwanira ebifo ebyemidaali.

Tags: