Ebyemizannyo

Abaaguzannyako bakiise e Mmengo

OMULANGIRA David Wassajja asisinkanye abamu ku baaguzannyakomu kiraabu za ‘Super’ ne Cranes n’abeebaza okussa ettoffaali ku mupiiragwa Uganda.

Okuva ku kkono; Paasita Paul Musisi,Kitatta, Omulangira David Wassajja,Asuman Lubowa, Paul Ssali ne ‘Iron Man’ Isaac Nkaada oluvannyuma lw’ensisinkano mu Bulange e Mmengo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMULANGIRA David Wassajja asisinkanye abamu ku baaguzannyako
mu kiraabu za ‘Super’ ne Cranes n’abeebaza okussa ettoffaali ku mupiira

gwa Uganda.


Bano be beegattira mu kibiina kya Former Footballers Senior’s Foundation Uganda abaamusanze mu Bulange e Mengo ku Lwokusatu.


Baakulembeddwa omuyima w’ekibiina, Pasita Paul Musisi ne ssentebe, Paul Ssali
ng’abalala kwabaddeko Asuman Lubowa, ‘Iron Man’ Nkaada. “Mwebale kuwa mupiira gwaffe kifaananyi kirungi era temukoowa kukinnyikiza mu miti emito.

 

Mbeebaza okusigala nga muli wamu nga ne Kabaka ky’asiiba akalaatira Obuganda,” Wasajja bwe yabasiimye.

Tags:
OMULANGIRA David Wassajja
Former Footballers Senior’s Foundation Uganda