Ebyemizannyo

CAF eremedde ku PAMOJA okutegeka AFCON 2027

PULEZIDENTI wa CAF, Dr. Patrice Motsepe ayongedde okukooneramu Uganda, Kenya ne Tanzania nti balina obusobozi obumala okutegeka AFCON 2027.

Motsepe
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

PULEZIDENTI wa CAF, Dr. Patrice Motsepe ayongedde okukooneramu Uganda, Kenya ne Tanzania nti balina obusobozi obumala okutegeka AFCON 2027.
Empaka zino ezimannyiddwa nga PAMOJA 2027, zitandika June 19 okutuuka July 17, 2027. “Wadde amawanga ga PAMOJA gakyabulamu mu nteekateeka, abantu bagume nti empaka zijja kubeerawo ate zinnyume, abategesi mbeesiga”,. bwe yakkaatirizza.

Yabadde mu ttabamiruka wa CAF mu kibuga Abuja ekya Nigeria ku Lwomukaaga. “Wadde waliwo okusoomoozebwa mu bizimbe, entambula n’ebirala, amawanga ago gagenda kukola bulungi era mbasaba tugawagire,” bwe yayongeddeko. Yagambye nti okusoomoozebwa tekutandikidde ku ba PAMOJA wabula Cameroon, Ivory Coast n’abalala baakuyitamu ate oluvannyuma empaka ne zitambula bulungi.

Tags: