Abaagazi b’omuzannyo gwa Pool bajaganya oluvannyuma lwa kkampuni ya Nile Breweries okubayiwamu kavvu wa sh1,719,000,000/= (akawumbi kamu n’obukadde lusanvu mu kkumi na mwenda) nga zaakuddukanya muzannyo okumala emyaka esatu.
Buli mwaka baakubawa obukadde 573 ng azino zirinyisiddwa okuva mu bukadde 300 ze baali babawa emyaka esatu egiyise.

Xm 98
Bino birangiriddwa ku kutongoza empaka z’omwaka mu kuzza endagaano wakati wa Nile Breweries n’ekibiina kya Pool Association of Uganda (PAU) ku mukolo ogwabadde ku bitebe kya kkampuni eno e Luzira.
“Tuluddewo okutandika empaka za National Nile Special Open Pool Championship wabula ng’enteseganya ziwedde. Kyokka tukyusizza nga kati buli ludda lwakuteekamu ku ssente,” kitunzi wa Nile Special, Eric Malinga bwe yategeezezza.
Ategeezezza nti tebagenda kukoma ku mpaka zino eza National Open wabula n’okuvujjirira ttiimu y’eggwanga eya pool.

Ye ssentebe wa PAU omupya, Gideon Onyango ategeezezza nti enkyukakyuka mu ndagaano empya zigenda kusobozesa empaka zino okutuuka mu disitulikiti ezisoba mu 80 ekitabaddeewo kubanga ezimu empaka zibadde tezituukayo.
“Tukyusizza okusobola okutambulira ku nkola y’etteeka eppya ery’emizannyo erirambuka omuzannyo okubeeramu buli disitulikiti. Eyo era y’ensonga lwaki ssente ez’obuvujjirizi zirinnye okuva ku bukadde 300 okudda ku 573 omwaka,” Onyango bwe yategeezezza.
Wabula yawabudde abagenda okuddukanya empaka omuli baddifiri ne bakalabaalaba nti olw’okugaziya omuzannyo, ensibi ez’ensako zoolekedde okukendeera.
Empaka za disitulikiti zitandikira Masaka ku nkomerero ya wiiki eno mu bifo ebitali bimu okusinziira ku Robert Kayanja ‘Pipo’ akulira akakiiko ak’ekikugu.
Kayanja alambise ziku ku nkyukakyuka mu mpaka z’omwaka guno ezigenda okuggwa nga January 31.
Muno mulimu okujjawo ekya bakafulu obutazannya za kusunsula kubanga emyaka gyonna omunaana babadde bajja butereevu ku fayinolo.
Kati bakafulu nabo baakuzannya ez’okusunsula.
“Abazannyi bana bokka kati be bagenda okujja nga tebayise ku kusunsula okuli ba kyampiyooni b’omwaka omukazi n’omusajja wamu ne kafulu omu omukazi n’omusajja,” Kayanja bwe yategeezezza.
Wabula abazannyi bakkiriziddwa okuzannya ez’okusunsulamu oluzannya olusooka enfunda zonna ze basobola.
“Etteeka ekkadde libadde liragira omuzannyi okuvuganya omulundi gumu gwokka era nga bw’alemwa okubeera mu basatu abayisaamu abeera alinda mwaka guddako. Ku luno bw’otoyitamu osobola okugenda n’ovuganyiza awakaka,” bwe yalambise.
Okwetaba mu mpaka, ogula eccupa za bbiya wa Nile Special nnya.
Ez'omwaka oguwedde zaawangulwa Ceaser Chandiga mu basajja ate Rashida Mutesi n'awangula mu bakazi ne bavulumula mmotoka Toyota Impreza buli omu.
Abawanguzi omwaka guno baakufuna mmotoka ze zimu wabula nga nkola mpya okusinzira ku ssentebe wa PAU, Onyango