Basabye Kaliisoliiso anoonyereze ku kkampuni ezimba omwala gw’e Nakamiro

ABATUUZE  b’e Kawempe balaajanidde kaliisoliiso wa gavumenti okusitukiramu ku kkampuni eyakwasibwa okukola omwala gwa Nakamiro gye bagamba nti egukoze gadibengalye

Abatuuze nga balaga omwala gwa Nakamiro engeri gye guzimbwamu.jpg
By Moses Lemisa
Journalists @New Vision
#Kaliisoliiso #anoonyereze #omwala #Nakamiro

Bya Moses Lemisa

ABATUUZE  b’e Kawempe balaajanidde kaliisoliiso wa gavumenti okusitukiramu ku kkampuni eyakwasibwa okukola omwala gwa Nakamiro gye bagamba nti egukoze gadibengalye

Kino kiddiridde omwala guno okujjamu enjatika ng’ate tegunnamalirizibwa.  

Abatuuze bagamba  engeri gye gukolebwamu  tegusobola kumalawo mataba mu Kawempe.

 Basabye kaliisoliiso w’eggwanga Bettie Kamya okussaawo akakiiko akanoonyereza ku kkampuni   eyakwasibwa omulimu guno gye bagamba nti omulimu egukoze bubi nnyo .

James Ssenkaali omu ku batuuze mu muluka gwa Bwaise III omuyita omwala guno yagambye nti   ebitundu okuli  Kawempe Ttula , Kawempe Mbogo, Kaleerwe , Makerere , Kazo Angola  buli nkuba lw’etonnya amazzi gagweera mu Bwaise  ng’ekisinga okwewuunyisa enkuba ne bw’etonya e Kazo ng’e Bwaise tetonya bafuna amazzi ne gabayingirira ne mayumba .

  MEEYA WE KAWEMPE AYOGEDDE

Emmanuel Sserunjogi meeya w’e Kawempe yategeezezza nti  omwala gwa Nakamiro, kkampuni eguzimba yaweebwa obukadde 20. Ono akkaanyizza n’abatuuze ku kya kaliisoliiso okukola okunoonyereza.

Juliet Bukirwa omwogezi wa KCCA yategeezezza nti ensonga kagituuse eri b’ekikwatako bagirondoole.