Olukung’aana lw’enjiri e Namirembe lusombodde ebikumi by’abantu

ABANTU bajjumbidde olukung’aana lw’enjiri gaggadde olw’omwaka 2025 olwategekeddwa Obulabirizi bw’e Namirembe mu bimuli bya Lutikko e Namirembe.

Omulabirizi Banja ng’asabira abaana.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABANTU bajjumbidde olukung’aana lw’enjiri gaggadde olw’omwaka 2025 olwategekeddwa Obulabirizi bw’e Namirembe mu bimuli bya Lutikko e Namirembe.
Eggulo ku Ssande, Abakkiriza okuva mu Bulabirizi bw’e Namirembe n’ebitundu ebirala baabukeerezza nkokola okwetaba mu lukung’aana luno olwatuumiddwa Namirembe Diocesan Convention 2025 abantu ab’enjawulo mwe baayise okuliisa ekigambo kya Katonda.
Omulabirizi w’e Namirembe, Moses Banja, Omulabirizi wa Central Busoga Patrick Wakula, Ddiini wa Lutikko y’e Namirembe, Rev. Can. Dustan Kiwanuka Mazinga, Rev.
Stephen Lumu Lwasi akulira ekitongole ekibuulizi ky’enjiri mu Bulabirizi w’e Namirembe, Rev. Grace Kavuma amyuka akulira ekitaongole ekibuulizi ky’enjiri e Namirembe n’abalala be baabuulidde. Omubuulizi w’olunaku yabadde mulabirizi Patrick Wakula nga yabuulidde Abakkiriza bulijjo okusigala nga bakwatagana ne Katonda waabwe wakati mu bisoomooza bingi kubanga ku nkomero y’okusoomoozebwa wabaawo obuwanguzi.
Yabakubirizza nti, tebateekeddwa kukkiriza kuwangulwa mu ntalo zonna kubanga wabaawo ebimalamu amaanyi nga bijja naye bw’onywerera mu Katonda owangula.
Yasabidde abeetabye mu lukung’aana luno okugonza emitima gyabwe basobole okutambula ne Katonda kubanga sitaani akozesa nnyo obukakanyavu bw’emitima
ouwangula Abakkiriza.
Omulabirizi Banja yakubirizza abantu bulijjo okutya kwabwe okukusindiikirizanga ku Katonda erabeekuume nnyo sitaani kubanga ye buli kiseera atambula anoonya gw’alya. Yagumizza abeetabye mu lukung’aana luno nti, kye baakoze kabonera ka buwanguzi
 era n’abasabira Katonda ababeere sitaani aleme kubamira. Gladys Kiragga, pulezidenti w’abakazi Abakristaayo mu Bulabirizi bw’e Namirembe yalambuludde nti, enteekateeka y’okubuulira enjiri eno yatandika ku Lwakutaano n’embaga ey’awamu era emigogo gy’abagole 50 ne gigattibwa n’ategeeza nti, nga bo abawomyemu omutwe kibakoze  bulungi kubanga basobodde okubuulira enjiri mu bikolwa. Olukung’aana lwetabiddwaako Kaliisoliiso wa gavumenti Beti Kamya.
Kkwaaya ez’enjawulo okuli ez’amakanisa n’ez’abaana ‘bamasomero
zaabuulidde enjiri okuyita mu nnyimba