Bya Moses Lemisa
ABATUUZE b’e Kawempe balaajanidde kaliisoliiso wa gavumenti okusitukiramu ku kkampuni eyakwasibwa okukola omwala gwa Nakamiro gye bagamba nti egukoze gadibengalye
Kino kiddiridde omwala guno okujjamu enjatika ng’ate tegunnamalirizibwa.
Abatuuze bagamba engeri gye gukolebwamu tegusobola kumalawo mataba mu Kawempe.
Basabye kaliisoliiso w’eggwanga Bettie Kamya okussaawo akakiiko akanoonyereza ku kkampuni eyakwasibwa omulimu guno gye bagamba nti omulimu egukoze bubi nnyo .
James Ssenkaali omu ku batuuze mu muluka gwa Bwaise III omuyita omwala guno yagambye nti ebitundu okuli Kawempe Ttula , Kawempe Mbogo, Kaleerwe , Makerere , Kazo Angola buli nkuba lw’etonnya amazzi gagweera mu Bwaise ng’ekisinga okwewuunyisa enkuba ne bw’etonya e Kazo ng’e Bwaise tetonya bafuna amazzi ne gabayingirira ne mayumba .
MEEYA WE KAWEMPE AYOGEDDE
Emmanuel Sserunjogi meeya w’e Kawempe yategeezezza nti omwala gwa Nakamiro, kkampuni eguzimba yaweebwa obukadde 20. Ono akkaanyizza n’abatuuze ku kya kaliisoliiso okukola okunoonyereza.
Juliet Bukirwa omwogezi wa KCCA yategeezezza nti ensonga kagituuse eri b’ekikwatako bagirondoole.