Lya enva endiirwa n’ebibala ogobe endwadde nga oli mu muggalo

Jul 04, 2021

OKULYA obulungi kitegeeza okulya emmere ey’obutonde so si kulya bisiike oba ebittafuttafu.

NewVision Reporter
@NewVision

Wadde ng’omuggalo gutunyiga mu bintu bingi naddala nga tewakyali kugenda mu bbaala, kwetaba mu mikolo, okugenda okucakala oba okukyala abasinga gye tuliira ebittafuttafu oba okulya, omukisa guno osobola okugukozesa okusala omugejjo oba okukuuma obuzito bw’omubiri bw’obade nabwo ne buba nga tebukukosa.

Okulya ebisiike tekitegeeza kulya bulungi

Okulya ebisiike tekitegeeza kulya bulungi

Dr. Paul Kasenene, mukugu mu kujjanjabisa emmere okuva mu Wellcare Health and Wellness agamba nti, omukisa guno gukozese okulaba nga olya bulungi kisobozese omubiri okwetereeza.

Mu mbeera eno, weemanyiize okulya emmere ey’ekigero kisobozese omubiri okugikolako amangu esobole okugasa omubiri gwo. Tolya muwumbo gwa mmere kuba etuula mu mubiri ekiguviirako okukosebwa n’ofuna omugejjo n’ebirwadde ebirala.

Mu budde buno, weewale okulya ebittafuttafu n’ebisiike kuba si birungi eri omubiri gwo.

Wettanire ebyokulya nga bino osobole okukuuma omubiri

Wettanire ebyokulya nga bino osobole okukuuma omubiri

Omuntu ayagala okutandika okulya obulungi, essira sooka oliteeke ku bika by’emmere ennungi gy’oyinza okulya n’emmere eteri nnungi gy’oyinza okwesonyiwa.

Mu mbeera eno, essira sooka oliteeke ku kulya ennyo ebibala n’enva endiirwa by’osinga okwagala nga nnakati, doodo ate ebibala oyinza okulya ku ffene, ebikajjo, ennaanansi n’ebirala.

Kw’ebyo yongerezaako okunywa amazzi n’omubisi gw’ebibala, omubisi gw’enjuki, emmere y’ensigo ng’ebinyeebwa, kasooli n’ebirala bingi kubanga biyamba omubiri okufuna ebiriisa ebituufu ebituukana n’obwetaavu bw’omubiri gwo ekikuyambako okusala omugejjo n’okukuuma obuzito bw’omubiri obw’ekigero.  

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});