Engeri eddagala ly'omira gye liyinza okufuuka ery'obulabe eri amatu go

Mar 13, 2023

Omuyizi w'e Makerere eyaziba amatu olw'okumira eddagala erimu alojja ; “Nnamira quinine kati ndi kiggala”

NewVision Reporter
@NewVision

Ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organization (WHO) kyassaawo n’olunaku lwa March 3 okwongera okubangula abantu ku kuziba amatu.

Baagezaako okumanyisa abantu ku bintu ebitali bimu ebiyinza okuvaako okuziba amatu n’okukulaga engeri gy’oyinza okukyerinda.

Marion Rinah Namwase, Omu Ku Bakiggala Eddagala Lya Quinin Gwe Lyaziba Amatu.nin Lye Lyamwonoona Amatu

Marion Rinah Namwase, Omu Ku Bakiggala Eddagala Lya Quinin Gwe Lyaziba Amatu.nin Lye Lyamwonoona Amatu


Marion Rinah Namwase 22, muyizi ku yunivaasite yaziba amatu ku myaka 11 era embeera ajoogerako bw’ati;

 “Nazaalibwa nga mpulira bulungi. We Nnawereza emyaka 11 awo we nabeerera mu P6, natandika okusanga obuzibu mu kuwulira. Bazadde bange baasooka kulowooza nti ndi mu kwekoza naye nga eky’amazima nali sikyawulira bulungi.

Bantwalako mu ddwaliro abasawo banneekebejje ne bakizuula nti amakerenda ga Quinin ge ganviirako obuzibu bw’obutawulira nti nali ngamira nnyo mu bungi ate nga siweebwa byakunywa bimala.

Omuwala Ng'atadde Headset Mu Matu Awuliriza Ennyimba.

Omuwala Ng'atadde Headset Mu Matu Awuliriza Ennyimba.

We nnatuukira mu S2, nali sikyawulirirako ddala. Bantwala mu masomero ga bakiggala agatali gamu ne ngasomeramu okutuuka mu S5, olwo ne balyoka banziza mu masomero agaabulijjo agalimu abaana abawulira wabula nze ne banfunira omutaputa annyambako okwogerezeganya nange ng’akozesa olulimi olw’obubonero kuba nnali mbuyize bulungi,” Namwase bw’anyumya.

Omukugu mu kujjanjaba n’okulongoosa amatu ennyindo n’amalookooli, e Mulago, Dr. Isaac Mukiibi yagambye nti eddagala lya Quinin lisobola okuviirako omuntu okuziba amatu era nti ye yekka wabula waliwo n’eddagala  eddala erikendeeza okuwulira kwo oba okukufuula kiggala ssinga olikozesa bubi. 

Asonze kulitera okuweebwa obwana obuwere nga bulwadde yinfekisoni z’omu musaayi, eddagala eritta obulumi, erijjanjaba puleesa, erya kkookolo n’eddala.

Ng’oggyeeko eddagala waliwo abazaalibwa nga bo bakiggala, era ng’obuzibu busobola okuba nga buva ku butofaali bw’abazadde be era nga ffamire yaabwe erimu akalandira akabaviirako okuzaalanga abamu ku baana nga batawaanyizibwa mu kuwulira.

Dr Isaac Mukiibi Ng'annyonnyola 600

Dr Isaac Mukiibi Ng'annyonnyola 600


Olumu embeera y’okuzaala bakiggala eva ku kaseera abakyala abamu mwe babeerera abazito nga tebalya mmere erimu biriisa byetaagisa oba okufuna yinfekisoni n’azaala omwana atawulira bulungi.  Mu ngeri y’emu maama bw’ozaala omwana n’atuuka ebweru ng’akooye, era emikisa gye eky’okutawaanyizibwa mu kuwulira gibeera gya waggulu. Kale bakubirizibwa okuzaaliranga mu bakugu kuba basobola okutaakiriza ku mbeera eno.

Okugwa ku nvumbo y’omu matu n’ogisokoolamu naddala ng’okozesa buno obuntu obuliko bamba obugulwa okuyonja amatu nakyo si kirungi eri amatu.

Mu butonde okutu kweyonja kwokka, okuggyako eri abantu abamu ng’atuuse ekiseera ng’envumbo ye ekalubye, awo w’olina okugendera mu bakugu ne bakwoza mu kutu ne bagigonza n’ekendeerako bukendeezi so si kugimaliramu ddala kuba eziyiza ne kacica okuli enfuufu oba ebiwuka ebiyinza okukuyingira mu matu.

Okussa “Headsets mu matu n’otumbula eddoboozi ekisukkiridde, ssaako n’abawangaalira mu bireekaana okuli abakolera mu zi fakitole, mu bidongo, mu ddwaaniro awali emmundu ne bbomu oyinza okuziba amatu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});