Okukuba bbulooka kulimu ssente
Jun 01, 2023
OKUKUBA bbulooka kimu ku by’oyinza okufunamu ssente bw’oba oziyiiyirizza. Bwatyo Lukia Namatovu ow’e Kawempe bwe yatandise emboozi ye ey’okuyiiya ssente.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Sarah Zawedde
OKUKUBA bbulooka kimu ku by’oyinza okufunamu ssente bw’oba oziyiiyirizza. Bwatyo Lukia Namatovu ow’e Kawempe bwe yatandise emboozi ye ey’okuyiiya ssente.
Yagasseeko nti, “Ettaka lye nkubamu bbulooka ndigula kubanga sirina we nsobola kulisima. Ngula loole ya Canter’ buli emu ya 30,000/-. Ntera kugula buloole 15 obw’ettaka ze ssente 450,000/.
Bbulooka ezange nzeekubira naye bwe mba njagadde nteekako annyambako ne musasula 500,000/-. Nnina abannyambako okupanga tanuulu nga mbasasula 200,000/-gattako enku ze nkozesa okwokya bbulooka 850,000/-.
Muno nsobola okufunamu bbulooka 10,500. Nga buli emu ya 250/-. Bwe ziba tezikufiiriridde ofunamu 2,650,000/- nga bw’oggyako by’osaasaaanyirizzaako ssente osigala ofuna ekiwera.
No Comment