ABAKOZI ba mmotoka batandise okukyusa yingini zaazo nga bakola ziwewuka okusobola ‘okukendeeza ku buzito bwazo mu kaweefube w’okukendeeza ku mafuta ge zinywa.
Richard Masaaba nga mukugu mu by’okukanika yingini za mmotoka enkola empya n’enkadde e Kabowa agamba nti bbulooka za yingini za mmotoka enkola empya kati ezisinga za Aluminium okuva ku z’ebyuma ebimanyiddwa nga Cast Iron.
Yingini za Aluminium za ntondo obutafaananako na za Cast Iron kuba mmotoka bw’ekyamuka zibuguma ne zikyama nga kizibu okuzikanika ne ziddawo.
Ebyonooneka nga yingini ya Aluminium ekyamuse;
l Esobola okukyama neeseeseetuka okuva mu mbeera yaayo.
l Esobola okufuna enjatika ku ngulu
l Esobola okutta Cylinder head