Agafa ku bidduka ; Nnamba puleeti za digito za January
Sep 24, 2024
Kkampuni ezaapatanibwa okukola nnamba puleeti z’ebidduka zituuse ku kukkaanya ne gavumenti ku bbula lyazo.

NewVision Reporter
@NewVision
Kkampuni ezaapatanibwa okukola nnamba puleeti z’ebidduka zituuse ku kukkaanya ne gavumenti ku bbula lyazo.
Kino kiddiridde abayingiza mmotoka mu ggwanga okukonkomala nazo okumala ekiseera ate nga baba bamaze okusasula emisolo gya gavumenti.
Kkampuni ebbiri okuli, GM Tumpeco wamu ne Arnold Brooklyn ezaapatanibwa okukola nnamba puleeti zaayingiza obubaati kwe zikubibwa 61,00 okusobola okumalawo ebbula lyazo eribadde litadde abayingiza mmotoka mu ggwanga ku bunkenke.
Elvis Sekyanzi, akulira kkampuni ya GM Tumpeco yagambye nti, ebbula lya nnamba puleeti lyasinze kuva ku kontulakiti ez’ekiseera ekitono ezizze zibaweebwa minisitule y’eby’enguudo n’entambula nga bwe balinda kkampuni ya Russia ekola nnamba za ‘Digito’ okutandika okukola wabula ng’ebadde eyongezaayo buli kiseera.
“Emyaka gisoba mu 24 nga tuweereza eggwanga awatali kulijuza. Tuli beeteefuteefu okugenda mu maaso n’omulimu guno okusinziira ku gavumenti bw’eneeba etuluhhamizza,” Sekyanzi bwe yagambye.
Wabula Suzan Kataike, omwogezi wa minisitule y’ebyenguudo yagambye nti, okugaba nnamba puleeti eza ‘Digito’ ku pikipiki kwa kutandika nga November, 1, 2024 ate eza mmotoka zitandika nga January 6, 2025 eri ezo eziba zaakayingizibwa mu ggwanga.
Byo ebidduka ebyamala edda okufuna nnamba puleeti ze ziba zigenda okuddako. Wabula ebidduka ebibbiddwaako nnamba ssaako n’ezo eziba zifunye obuzibu obw’enjawulo zigenda kuba zikolwako mu bwangu.
Francis Kanakulya, okuva mu kibiina ekigatta abasuubuzi ba mmotoka mu ggwanga ekya Associated Motor Dealers - 2015 yagambye nti, batutte ekiseera nga bayita mu kusoomoozebwa kw’ebbula lya nnamba puleeti ate baba bamaze okuwa omusolo gwa gavumenti nga basigala basasula ssente buli bbamga mmotoka ly’emala nga tefulumiziddwa. Wabula Kataike, agamba nti, mmotoka za gavumenti zigenda mu maaso n’okukyusibwa okuva ku nkadde okudda mu mpya eza ‘Digito’.
No Comment