Agafa ku bidduka : Weewonye obubenje ng'okuuma ball Joint nga nnamu!

BALL joint y’emmotoka kye kyuma ekigatta Hub okutuula omupiira ne Suspension plate nga eno y’etuulako ssekabuzooba y’emmotoka.

Agafa ku bidduka : Weewonye obubenje ng'okuuma ball Joint nga nnamu!
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision
#Amawulire #Musasi #Bubenje #Kukuuma #Bulamu

BALL joint y’emmotoka kye kyuma ekigatta Hub okutuula omupiira ne Suspension plate nga eno y’etuulako ssekabuzooba y’emmotoka.

Abas Nsubuga, makanika ku S.G Garage e Luzira, agamba nti, ‘ball joint’ eno omugaso gwayo omukulu gubeera gwa kugatta byuma bino bisobole okukwatagana.

Ebeerako ka labba akambazibwako waggulu okutangira okuyingiza enfuufu kubanga ekoonoona, era singa okizuula nga labba ekutuse obeera olina okugikyusa mu bwangu kaleme kuyingiza nfuufu.

Enfuufu bw’eyingira munda mu ‘ball joint’ yeegatta mu ggiriisi ateekebwamu olwo n’etandika okulebera nga tekola bulungi mulimu gwayo.