Ssanyu ; Ndi kafulu mu kuzannya ffirimu

Nov 29, 2023

Ssanyu; Nuluyat Nampala ababuuzaako.

NewVision Reporter
@NewVision

Okunnyimiriza wano ebbanga lino lyonna onnanze ki?

Wangambye nti we mbeera omanyiwo nti era ojja kusobola okwetuusa.

Mbuzaabuziddwa ne nnemwa okutuuka kwe kukukubira essimu onsange wano naye naawe oluddeyo nnyo...

Ekirungi nkutuuseeko kati mbuulira by’onnoonyeza.

Mukama wange yantumye omuwala omubalagavu ate nga yasoma abeere omuwandiisi we ow’enkalakkalira. Awo we nasangidde mukwano gwo n’abigaana n’asemba ggwe

Haaa…, ebyobuwandiisi nange sijja kubisobola kubanga nze ndi muzannyi wa ffirimu.

Ate nze ndaba ebya ffirimu olinga atabisobola...

Nze ndi muzannyi wa ffirimu omutendeke era ndi kafulu mu kuzannya.

Ffirimu ozizannyira wa?

Nzannyira mu kibiina kya Eminent Entertainment.

Omutima oguzannya ffirimu waguggya wa?

Nnina ekitone era kuva buto nga njagala nnyo eby’okuzannyira ku siteegi. Gye nasomera pulayimale ne siniya nneetabanga mu kuzannya katemba, kye nva saakaluubirizibwa kwegatta ku ba ffirimu nga nkuze.

Bye mpuliri bituufu nti buli kyanakiwala ekizannya ffirimu kisooka kuyitako ewa dayirekita wa ffirimu ne kimulabamu?

Eno ewaffe, ebyo tebiriiyo. Kitone kyo kye kikweyimirira

Kati kusoomoozebwa ki kwe wali osanze mu kuzannya ffirimu?

Abawagizi batutwalira nnyo mu mbeera ze tweyisaamu nga tuzannya.

Nze lumu omuwagizi yalaba ffirimu mwe nnali nzannyira n’anyiiga n’annumba ng’ayagala okunkuba nti lwaki nnina empisa embi. Kyokka nga biri tuba tuzannya bizannye.

Mu kitundu ekirimu okwenywegera nga muzannya, daalingi wo tafuna ebbuba?

Era naakakyayibwa abasajja babiri lwa bintu ebyo. Omu bwe yalaba engeri gye nneemoolamu n’abasajja nga tuzannya n’ahhamba ku kuzannya ffirimu n’okusigala mu laavu naye nondeko kimu. Nalondako ffirimu.

Batukubiriza nti omukyala alina okugondera omwagalwa we...

Nze ekisaawe kya laavu njagala kukiyingiramu n’omuntu awagira bye nkola naddala ffirimu zange.

Kintu ki ekirala ky’okola ng’oggyeeko okuzannya ffirimu?

Nsoma era njagala mmalirize bulungi emisomo gyange mpeese maama wange ekitiibwa.

Osomera wa?

Ku yunivasite y’e Makerere, era nkuguka mu byamawulire nga ndi mu mwaka gwange ogusembayo.

Mpa ku mannya go?

Nze Nuluyat Nampala ow’e Bulenga - Nankuwadde

Bawala banno bampeere obubaka

Bazuule ebitone byabwe ate bekkiririzengamu nga bassa mu nkola buli kye baagala okukola. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});