Abayitidde mu ddaala erisooka ku Rines S.S babakwanze ente bookye ennyama nga bajaganya
Feb 15, 2024
Essomero lya Rines S.S Namusera mu Wakiso lyongedde okweriisa enkuuli mu bya S. 4!

NewVision Reporter
@NewVision
Essomero lya Rines S.S Namusera mu Wakiso lyongedde okweriisa enkuuli mu bya S. 4!
Ku bayizi 149 be batuuza, 97 bayitidde mu ddaala laisooka, 45 lyakubiri , 7 lyakusatu ng'abayizi abasinze abasatu bafunye obunonero 8 mu 8.
Abalala basatu 9 mu 8 era olw'essanyu eringi badayirekita okubadde; Denis Kalisa ne Robert Byamukama nga beegattiddwako omukulu w'essomero Godfrey Sserwadda basazeewo okukwasa abamu ku bayizi ababaddewo ku lwa bannaabwe ente okubeebaza olwokukola obulungi.
Kaliisa agambye nti essomero lyabwe lye limu ku gasinze okukola obulungi mu ggwanga lyonna ne mu disitulikiti y'e Wakiso n'asaba abazadde okubongera abaana era ne yeebaza abazadde n'abasomesa be olw'enkolegana ennungi.
Ate Godfrey Sserwadda yeebazizza badayirekita baabwe olw'okubawa ebikozesebwa byonna ekibayamba okukola obulungi emirimu gyabwe.
Ono ayogedde ku biyambye abayizi baabwe okuyita obulungi okuli okukolera awamu okuwuliziganya obulungi.
No Comment