Frank Gshumba azzizza omuzigo ku ssomero gyeyasomera

ABADDUKANYA essomero lya St.Francis Xavier Villa-Maria e Kalungu erimu ku ga Gavumenti agasinga obukulu n'ebyafaayo mu ggwanga,  bafunye  akaseko ku matama oluvannyuma lw'omu ku baali abayizi mu ssomero lino Frank Gashumba ow'ekisinde kya Gen. Muhoozi  Kainerugaba ne Sisimuka - Uganda  okubakuba enkata ya nsawo za Siminti  100 okuyambako mu kuzzaawo essomero  lino eryazimbibwa  Abaminsane mu 1895

Frank Gashumba ng'ali ku ssomero lya Villa Maria e Kalungu
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

ABADDUKANYA essomero lya St.Francis Xavier Villa-Maria e Kalungu erimu ku ga Gavumenti agasinga obukulu n'ebyafaayo mu ggwanga,  bafunye  akaseko ku matama oluvannyuma lw'omu ku baali abayizi mu ssomero lino Frank Gashumba ow'ekisinde kya Gen. Muhoozi  Kainerugaba ne Sisimuka - Uganda  okubakuba enkata ya nsawo za Siminti  100 okuyambako mu kuzzaawo essomero  lino eryazimbibwa  Abaminsane mu 1895
  Gashumba  ku Lwomukaaga  nga October 18, 2025  yatutte loole ekubyeko ensawo za Siminti 100 ku ssomero  lino erisangibwa   ku kyalo Villa Maria  mu disitulikiti  y'e Kalungu  n'azikwasa akulira olukiiko oluliddukanya essomero lino Emily Bourgeois Namatovu ne Heedimasita Denis Bukenya wamu n'abayizi wakati mu kumwebaza. 

Frank Gashumba ng'abuuza ku bantu

Frank Gashumba ng'abuuza ku bantu

Simiti nensawo 100, Gashumba yali yazeeyama oluvannyuma lw'okuwulira omulanga gw'abaddukanya essomero lino  nga  bali mu kusala entotto  era batakula mitwe okulaba engeri gye bagenda okulizza ku maapu nti baligye mu mbeera embi gyeririmu kati.

Ebizimbe ebyazimbibwa mu mwaka gwa1895 kati ebifuuse ganyegenya olw'enjatika ezibijjuddemu n'obusolya obukaddiye naddala mu kiseera kino eky'enkuba ettonya, bye bimu ku bibobbya Emily Bourgeois Namatovu akulira olukiiko oluliddukanya n'abalala emitwe nti ekibawaliriza n'okuvaayo okukuba omulanga mu bekikwatako bayambeko.

Namatovu yategeezza nti essomero lino lyazimbibwa ku musingi gwa Eklezia nga lya balenzi bokka nti era libangudde abantu abaamanyi abawerako mu ggwanga nga mwe muli ne bannaddiini. 

Yannyonyodde nti ekimu ku byaliviirako okugwa ge masomero oluvannyuma agaatandikibwawo okulyetoolola nga gasomesa abayizi abawala n'abalenzi nti era we baalimukwasiza emyaka musanvu egiyise nga kyenkana lyafuuka matongo.

Agamba nti omulimo tegumuberedde mwangu nti wadde nga yatuuka n'okusalawo okulifuula ery'abawala n'abalenzi ky'agamba nti kizze kiyambako okwongera ku muwendo gw'abayizi buli mwaka. 

Wabula yekokkola abamu ku bazadde nti abakyalina endowooza egamba nti Gavumenti yerina okubawerayo buli kimu eri abaana baabwe mu masomero gaayo, ky'agamba nti nagwo mugugu munene nnyo mu ntambula y'emirimo gye.

Frank Gadhumba ng'yogerako n'abazadde n'abasomesa ku ssomero lya Villa Maria

Frank Gadhumba ng'yogerako n'abazadde n'abasomesa ku ssomero lya Villa Maria

Yawanjagidde bekikwatako naddala abeesobola abayitirako mu ssomero lino okuvaayo n'omukono omuyambi mu kuzaawo ekitiibwa n'obukulu bwalyo.

Edward Kitongoze ow'abazadde ku lukiiko yagaseeko eddoboozi n'alaga obukulu bw'okuza essomero lino engulu era nalaga essuubi nti baliko we batuuse.

Mu mbeera eno omu ku baana enzaalwa y'ekitundu era abaasomerawo Frank Gashumba yasitukidde n'adduukirira omulanga guno n'ensawo za sseminti 100 zeyakwasiza Namatovu 

Gashumba yategeezazza nti kikulu nnyo abantu abaliko we batuuse mu byenfuna okuyamba mu kusitula ebitundu byabwe n'agamba nti singa kikolebwa ne ku ssomero lino mu bbanga ttono enjawulo yakubawo.