Mu kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kya Pooliyo mu baana abato, Bannalotale batogonzza ekifo ku ddwaliro lya Peoples Medical Hospital Gayaza awagenda okugemebwa endwadde eno gattako okukola okunoonyereza ku ndwadde ezenjawulo ng'omukolo gukoleddwa gavana wa Lotale Geoffrey Martin Kitakule owa 'Roraty district' 9213.
Kitakule ategeezezza nti nga bannalotale baasalawo okuyambako gavumenti mu kulwanyisa pooliyo nga beesondamu ssente ezigula eddagala era wano waasabidde abazadde obutagayaala kutwala baana baabwe kugemebwa pooliyo olw’okusobola okukuuma ebiseera byabwe eby’omumaaso.

Gavana Wa Lotale Geoffrey Martin Kitakule Owa Lotale District 9213. Ayambadde Esuuti Ya Black Nga Atogoza Ekiffo (2)

Dr Frank Ndugga Nga Agema Omwana Pooliyo
Enteekateeka eno yawomeddwamu omutwe lotale club musanvu okwabadde Rotary ya Gayaza, Kira, Kampala North, Kampala Mahaba, Nakasero Central, Kampala Ssese Islands ne Kampala Life Stars.
Dr. Frank Ndugga akulira eby’omubulamu mu ssaza lya Kabaka ery'e Kyaddondo yeebaziza nnyo bannanotale olw’okweyaayo era n'asaba abantu ba Kabaka okugenda ku Ddwaliro lya Peoples Medical Hospital Gayaza okufuna obujjanjabi bwa pooliyo ku bwereere wamu n’okwekebeza endwadde endala kubanga okuziyiza kusinga okuwonnya.