Jjangu oyige okulima enva endiirwa, omusomo gwa Lwamukaaga lwa wiiki eno e Magere

Sep 26, 2023

AYAGALA okuyingira obulimi bw’enva endiirwa nga bizinensi, tosubwa omusomo gwa Bukedde ogugenda okukusomesa engeri y’okulima enva endiirwa mu ngeri ekuwa ssente.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Herbert Musoke

AYAGALA okuyingira obulimi bw’enva endiirwa nga bizinensi, tosubwa omusomo gwa Bukedde ogugenda okukusomesa engeri y’okulima enva endiirwa mu ngeri ekuwa ssente.

Omusomo guno gutegekeddwa kkampuni ya Vision Group ng’eri wamu n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda nga gwa bwereere.

Gutandika ku ssaawa 3:00 ez’oku makya okutuuka ku 10:00 ez’akawungeezi ku ffaamu ya Avail Faith Farm e Magere - Kasangati ku luguudo lwa Gayaza mu Wakiso.

Omukyala Ng’akebera Ku Nva Endiirwa Z’alima.

Omukyala Ng’akebera Ku Nva Endiirwa Z’alima.

Phiona Tamale, akulira enteekateeka z’ebivvulu mu Vision Group agamba nti engeri omusomo guno gye gusasuliddwa kkampuni ya Vision Group, abagenda okugwetabamu bakeere n’ebitabo n’ekkalaamu okuwandiika byonna ebigenda okubasomesebwa.

“Aneetaba mu musomo guno tasuubirwa kuvaamu nga bw’abadde kuba eby’okusomesebwa bitandikira ku ngeri y’okulonda ensigo ennungi, okutegeka ettaka, endabirira y’ebirime okutuuka ku katale,” Tamale bw’agamba.

Joseph Male, omuwanguzi w’empaka z’omulimi asinga 2019 nga mukugu mu kulima enva endiirwa y’agenda okukulemberamu okusomesa ng’ali n’abakugu abalala bataano okukakasa nti buli aneetaba mu musomo guno afuna ekisinga mu biseera by’agenda okumalawo. “Abagenda okugwetabamu bajje nga bakimanyi nti baakulagibwa ekiteekeddwa okukolebwa era tusuubira nti baakuvaawo nga basobola okubaako kye batandika okwekolera,” bw’agamba.

Agamba nti omusomo gugenda kutunuulira ebintu ebikulu mukaaga okuli;.

  1. Ebika ebiriko: Male agamba nti baakusomesa abantu ku bika by’enva endiirwa ebiriko nga birina akatale akalungi ng’omulimi asobola okubikolamu ssente mu kifo ky’okulima n’okutuuka okukungula ate nga tolina katale.
  2. Okulonda ensigo: Okusoomoozebwa okuliwo ku nsigo z’enva endiirwa, ezisinga ziggyibwa bweru wa ggwanga era za buseere. Olw’okuba abasuubuzi bakimanyi nti ziva bweru wa ggwanga n’abafere bakozesa omukisa ogwo okutunda ensigo z’ebicupuli ekifiiriza abalimi. Wano, abalimi baakuweebwa amagezi ku ngeri gye basobola okumanya n’okufuna ensigo entuufu.
  3. Okuteekateeka nassale beedi: Olw’okuba ensigo zino za buseere, kikwetaagisa okumanya engeri entuufu ey’okuzimezesa kuba buli nsigo efa, zibeera ssente z’ofiirwa. Omusomo guno, gugenda kuwa abalimi amagezi ku ngeri ennyangu gy’osobola okusimba n’okulabirira nassale beedi etEgenda kukufiiriza.
  4. Endabirira y’ebirime mu nnimiro: Ng’omaze okumeza endokwa, ate era kikulu okumanya engeri entuufu ey’okubirabirira nga bimaze okusimbulizibwa. Wano abaneetaba mu musomo baakulambikibwa ku mabanga g’okusimba, engeri y’okugimusa, eddagala ly’okukozesa n’ebirala okulaba nga by’osimba bikula bulungi okukuwa ekisinga.
  5. Akatale n’ekibalo: Okufuna mu bulimi oteekeddwa okubukola nga bizinensi nga wano kikulu okumanya ebikwetaagisa okussaamu ate n’engeri gy’ogenda okufunamu olwo okimanye oba obeera okola amagoba oba ofiirizibwa.
  6. Okulimira awafunda: Abantu baakusomesebwa engeri y’okulimira mu bifo ebifunda ng’empya kyokka ne basobola okukolerawo ssente.

Abaneetabamu bakubirizibwa okukuuma obuddde obutafiirizibwa bigenda kusomesebwa.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});