Engeri 14 gy'osobola okulabiriramu mmotoka gy'onootambuliramu ku Ssekukkulu

Dec 24, 2024

ABANTU bali mu kwetegekera ng'endo gye banaaliira Ssekukkulu n’okuyingira omwaka, era bangi bagenda mu byalo. Wabula ggwe anaasaabaza abantu olina by’osaanye okwegendereza ku kidduka kyo nga tonnakisimbula okwewala obubenje.

NewVision Reporter
@NewVision

ABANTU bali mu kwetegekera ng'endo gye banaaliira Ssekukkulu n’okuyingira omwaka, era bangi bagenda mu byalo. Wabula ggwe anaasaabaza abantu olina by’osaanye okwegendereza ku kidduka kyo nga tonnakisimbula okwewala obubenje.

Adulrahman Kairu, makanika ku Delo Motors Limited e Kazo akulaga by’oliba okussaako essira:

 

1 Kebera amazzi ga laadiyeeta, woyiro wa yingini ne hydraulic mu ggiya bookisi.

2 Emipiira gy’emmotoka gikebere olabe oba omukka gumala. Waliwo emipiira egifulumya obuwaya wabula ng’omukka mweguli kiba kitegeeza ogwo gukaddiye. Gulina okubeera n’obutoffaali oba amannyo g’omupiira.

3 Emmotoka giteekeko bbuleeki eziri ku mutindo okwewala obutasiba ekivaako obubenje.

4 Genderera woyiro gw’oteeka mu mmotoka yo mu nnaku zino kubanga bangi beeyambisa omukisa guno okutunda ebicupuli. Weegendereze nnyo akadomola k’oguze nga kaliko ssiiru.

5 Okutonaatona emmotoka, nakyo kigenderere naddala abakikola ku siteeringi nga baziteekako ebizibikka ebiseerera. Kyangu okukozesa omuvuzi ensobi ku kkubo.

6 Obuuma bwe bateeka ku biziyiza by’emmotoka mu ngeri y’okuzitona nabwo bwa bulabe era ekifo ekyo obuuma obulina okubeerawo bulina kussibwako kintu kya masanda oba labba kuba engatto ku kyuma
ebeera tesobola kunywerako. Singa labba aggweerera genda basseeko obulala.

7 Abavuga emmotoka za ‘Manual’, waliwo obubikka bwe bateeka ku ggiya liiva y’emmotoka nga nabwo bubeera bubi. Kisaanye osseeko ak’ekikula ky’eddiba.

8 Engatto z’oyambala ng’ovuga mmotoka kikulu. Ez’obukondo ne musonso si nnungi kukozesa ng’ovuga emmotoka era omuntu yandibadde anoonya engatto ewa emirembe nga ya wansi.

9 Abavuzi b’ebidduka kisaanye okubikuuma nga biyonjo, mubitambuliremu mu mirembe nga temweronda. Abooza emmotoka oluusi tebafa ku mipiira ne beerabira nti, gigendamu ettaka ate ng’ekyo kyonoona olupanka oba liimu y’emmotoka.

10 Obuwoowo omuvuzi w’ekidduka bw’ateekamu, tebwandibadde bungi kukosa banaatambulira mu mmotoka yo kuba mubeeramu n’aba alaje oba ab’emmeeme ennafu.

11 Omuvuzi w’ekidduka faayo okukebera akasengejja akalongoosa empewo ya AC era bwe kabeera kakutte enfuufu, kirungi n’oteekamu akalala okwewala endwadde eziyinza okuva mu bujama obwo buli lw’oyingiza enfuufu.

12 Amataala g’oteeka mu mmotoka yo gagenderere. Amataala agaaka ekisusse si malungi ku kkubo kuba gavuddeko obubenje bungi. Ate kirungi oyige n’enkozesa yaago entuufu.

13 Eri abatambula nga bawuliriza ennyimba, mwewale okuleekaanya leediyo musobole okugoberera n’ebiri ku kkubo.

14 Mwewale okutikka akabindo nga kino kitwaliramu abantu n’emigugu kuba kinafuya n’okwonoona emipiira gya mmotoka ekivaako obubenje.

Emmanuel Aleti owapoliisi eyeekebejja ebidduka ekya Inspector of Motor Vehicles (IOV) agamba nti, ekidduka kyetaaga okuwa obudde nga waakakikola saaviisi oba okukyusa ebyuma ebimu naddala nga waakakigula okusobola okwetegereza oba ebyakoleddwa byabadde byebyo kuba abamu ku batunda mmotoka ezikozeeko wano mu ggwanga bazitunda ‘nzizike’ nga kiba kyetaagisa okuwa obudde okumanya ebiyinza okubeera ebikyamu.

“Ezimu ku mmotoka enkadde omala kuzivuga lugendo okumanya ebikyamu ebizirimu wabula nga kino tolina kukikola mu biseera nga bino ng’otambudde ne famire yonna olw’obuzibu obuyinza okuvaamu,”
Aleti bwe yagambye.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});