Agafa ku bidduka ; Emmotoka empya gye zikomye okuyingizibwa n’endabirira okuba ey’ebbeeyi
Sep 24, 2024
ABATUUSA ebidduka mu ggwanga bongedde okuleeta emmotoka eziba zikoleddwa mu myaka gino okusinga ezo ezaakolebwa mu myaka egy’edda.

NewVision Reporter
@NewVision
ABATUUSA ebidduka mu ggwanga bongedde okuleeta emmotoka eziba zikoleddwa mu myaka gino okusinga ezo ezaakolebwa mu myaka egy’edda.
Bw’otuuka mu bbondi ezituusa mmotoka mu ggwanga weesanga nga balina emmotoka ezaakolebwa omwaka oguwedde (2023) nga baazireeta kuno nga zikozeko.
Embeera eno esinze kuva ku kkomo ku myaka eryassibwa ku mmotoka ezikozeeko ssinga ziba zaakuyingizibwa mu ggwanga.
Makanika Nga Yeekebejja Mmotoka Empya.
Wadde nga mmotoka zino zivudde mw’ezo enkadde ezitutte ekiseera ku kkubo, ezimu zongeddwaamu ebirungi bingi.
Drake Batte, nga musuubuzi wa mmotoka wansi w'ekibiina ekibagatta ekya Associated Motor Dealers, agamba nti, emyaka gya mmotoka gye gikomye okubeera okumpi n'obuseere bwazo. Agamba nti, mmotoka nga Toyota Alphard eya 2020 okudda waggulu esussa obukadde 50.
Wabula Badru Mwanje, nga makanika wa mmotoka e Nakawa, agamba nti, mmotoka gye zikomye obubeera empya gye zikomye okubeera ez’ebbeeyi okuyimirizaawo olwa tekinologiya omupya ateereddwaamu.
“Mmotoka enkola empya tezikyanywa woyiro oba ‘Hydraulic’ ebyabulijjo ebya ssente entono. Okukola saaviisi ya mmotoka empya ekutwalako ssente ezisukka mu 500,000/-,” Mwanje bwe yagambye.
Agamba nti, wadde amafuta ga mmotoka gasuubirwa okubeera ku mutindo, waliwo amasundiro agatunda ago agayinza okucankalanya ebika bya mmotoka ebipya.
No Comment