Agafa ku bidduka ; Ebyonoona ekizoosi y'emmotoka yo by'osaana weekuume
Mar 25, 2025
BULI mmotoka erina ekika kya ekizoosi ky’ekozesa. Ssinga ekizoosi efuna ekituli, emmotoka ezaala emize.

NewVision Reporter
@NewVision
BULI mmotoka erina ekika kya ekizoosi ky’ekozesa. Ssinga ekizoosi efuna ekituli, emmotoka ezaala emize.
Moses Mugerwa ayokya ggaasi nga omulimu guno agumazeemu emyaka 15 agamba nti bw’ogula emmotoka olina okumanya ebigikwatako owone okuferebwa.
Ebimu ku by’olina okwetegereza ye ekizoosi. Kuno kubaako sayirensa. Eno bw’efa kyanguyira mmotoka okufuna ebituli kuba mmotoka eba tekyasobola kussa bulungi.
Ekituli balina okukizibikira oba okugula ekizoosi endala. Zino za bbeeyi kubanga etandikirwako eri ku mitwalo 25.
Ebyonoona ekizoosi
Okuvugira emmotoka ennyimpi ku nguudo ez’ebinnya ebingi oba hampu ennene ekizoozi n’eba ng’ekuuta ku ttaka efuna ebituli. Emmotoka ezireetebwa wano okuva e Bulaaya ezisinga ziba zivugiddwaamu ng’ebyuma ebimu bikaddiye.
N’embeera y’obudde oluusi ezitawaanya. E bulaaya waliyo obunnyogovu, zigenda okutuuka wano ng’ekizoosi ejjudde woyiro. Kino kigireetera okufuna ebituli.
Okulwawo okukola saaviisi woyiro n’akaddiwa ne yeekwata mmotoka n’etandika okufuuwa ekikka. Kino kivaako ekizoosi okuzibikira omukka nga gukutte mu ekizoosi ekiyinza okuvaako ebituli.
Emmotoka ssinga emala ebbanga eddene ng’esimbiddwa mu kifo kimu ekizoosi etandika okutalagga munda. Bw’ogivuga mu mbeera eno, eba erwana bulwanyi okufulumya omukka n’ekiddako kuba kufuna bituli.
Mmotoka ezisinga zirina obusaanyi obuggyibwamu abamu ku bamakanika n’abooza. Buno kasita buggyiggwaamu, mmotoka eba evudde ku oligino yaayo n’etandika okufuluuta obubi, okunywa amafuta olwo ekizoosi eba erina okufuna ebituli.
Mmotoka bw’efuna ekituli ku ekizoosi, etandika okunywa ennyo amafuta n’okuvuuma obubi nga ereekaana.
No Comment