'Sinnafuna budde bwa laavu'
Feb 12, 2024
Ssanyu akuleetedde mwanamuwala Agenorwoth ng'akubuulira ebimukwatako

NewVision Reporter
@NewVision
Ononsonyiwa, nninga akumanyi oba nakulaba wa?
Oyinza okuba omutuufu nti ommanyi naye ewammwe tebaababuulirira kusooka kubuuza ku bantu nga temunnanyumya nabo?
Ekyo kinsonyiwe nnyabo. Eradde nnyabo, maamu, nnyooge, mirembe, abeeka?
Towanvuya nsonga.
Anti waliwo omuntu gw’oloba nga toyagala kumunyiiza nga buli ky’akugamba, okikolerawo..
Mpulira, genda mu maaso.
Sooka onzijukize gye nakulaba nga sinnagenda wala
Oyinza okuba wandabira ku mitimbagano gya yintanenti kwe ntimba myuziki wange abantu ne bamunyumirwa.
Eeee.. nakulabiddewo ng’ennyirira gy’onyirira ya bassereebu. Weeyita ani ng’onoonya ssente?
Agenomusic lye likola ssente naye bakadde bange bantuuma Eve Agenorwoth.
Kiki ekyakusikiriza okuyingira endongo?
Ekitone ky’okuyimba nava nakyo mu buto era natandikira mu Sunday School ne nzira mu kkwaaya y’Ekkanisa ng’ekirooto kyange kya kufuuka muyimbi wa maanyi mu ggwanga. Kyokka ne maama yansika nnyo okuyingira myuziki kuba yawulirizanga nnyo ennyimba za Elly Wamala nga nange nzinyumirwa.
Watandika mwaka ki okuyimba ezizo?
Natandika mu 2022 n’oluyimba ‘Mpita’ ne nzizaako ‘Mboola’ ate emyezi ebiri emabega nafulumizza ‘Simanyi’.
Muyimbi ki gwe weegomba?
Juliana Kanyomoozi ankolera.
Agenorwoth.
Ebyensasula biri bitya mu ndongo?
Ssente si kizibu kyange era mu kiseera kino, si kye ntunuulidde ennyo wabula okufulumya ennyimba ezikola amakulu eri abawagizi bange nsobole okutumbula ekitone kyange.
Olina akuteekamu ssente
Nninayo omuntu gwe nkola naye atera okunteekamu ssente naye nga sinnafuna manegimenti yeetongodde.
Abalowooza nti okuyimba kwa bantu bayaaye obagamba ki?
Abo mpozzi nga tebawuliranga ku kigambo kitone. Okuyimba kitone ate mulimu ogugaggawazizza abantu. Abaguyita ogw’abayaaye, tebamanyi kye boogerako.
Abakutuukirira ku nsonga z’omukwano obagamba otya?
Sinnafuna budde bwa mukwano.
Bubaka ki bw’olekera ffe abawagizi bo?
Mwongere okwagala myuziki wange ate mbasuubiza nti endongo nkyasumulula
No Comment