Akeezimbira : Ayagala okufuula ennyumba yo kalina sooka omanye bino

Yinginiya Francis Ddamulira agamba nti kirungi okusooka okumanya obungi bwa ssente eziyinza okukwetaagiza okuzimba kalina, oleme kukyamuka ng’olowooza nti ogagawadde nnyo ate nga zoolina buswazi ng’osinziira ku bipimo ebikyamu eby’ennyumba z’ozze ozimba.

Akeezimbira : Ayagala okufuula ennyumba yo kalina sooka omanye bino
By Kizito Musoke
Journalists @New Vision
#Akeezimbira #Nnyumba #Kalina

Yinginiya Francis Ddamulira agamba nti kirungi okusooka okumanya obungi bwa ssente eziyinza okukwetaagiza okuzimba kalina, oleme kukyamuka ng’olowooza nti ogagawadde nnyo ate nga zoolina buswazi ng’osinziira ku bipimo ebikyamu eby’ennyumba z’ozze ozimba.

l Osaana okufuna omukugu gwe bayita QuantitySurvayor n’akubalira omuwendo gw’ebintu ne ssente ebyetaagisa , oleme kukolera mu kuteebereza. 

l Kikwetaagisa okufuna abakugu ab’enjawulo okuli, omukubi wa ppulaani akulage engeri ennyumba gyenaazimbwamu. 

Abazimba Kalina Bateekamu Emitayimbwa.

Abazimba Kalina Bateekamu Emitayimbwa.

Yinginiya akuyamba okumanya entabula y’emitayimbwa ne njiwa ya siraabu. lKirungi okuzimba ku ttaka eriteredde ku mutendera ogumu. Wadde abamu bazimba nga omusinji guli mu mitendera, kyokka omusingi ogwenkana gwe gusinga obulungi.

l Omusingi gwa kalina gubeera muwanvu, era ennyumba gy'ekoma okubeera empanvu waggulu mu ngeri y’emyaliiro, n’omusinji gye gulina okukoma okugenda mu ttaka.

l Omutindo gw’ebintu by’ozimbisa gusaanidde gubeere nga gwa waggulu. Ebintu nga bbulooka, emitayimbwa, n’amayinja bisaanidde okubeera nga bya mulembe, era babikozese mu nkola entuufu eri mu mateeka g’okuzimba.

l Kirungi okubeera n’omukugu alambula omulimu gwo, ku mitendera egyenjawulo. Ekiri ku kalina, bw'okola ensobi mu kuzimba ate okugitereeza, kitwala ssente nnyingi nnyo, bwogeraageranya n’ezaazimba oluberyeberye.

Olumu zikubisaamu emirundi ebiri olumu n’esatu. Obugumu bw’ettaka nabwo bwetaaga okwekenneenya kuba waliwo ettaka nga si ggumu kuwanirira kalina nga kisobola okuvaako ebisenge okuyuuga.

Omuwendo gw’abantu gweyongera buli olukya ate ng’ettaka teryeyongera, kalina bwe buddikiro. Alina ku ssente osobola okuzimba ennyumba nga bulooka za mwenda n’osibamu n’empagi za kalina n’oyiwa siraabu n’osirika.

Essaawa yonna w’obeera ofunidde ssente oyongerako bwongezi nga tekikwetaagisa kumenya bye wazimba. Ekirungi kya kalina osobola n’okupangisaako abapangisa n’osulako oludda olumu ng’olulala bwonogamu ssente.