Akeezimbira ; Amaka go gafuule ga kiragala gakunyumire
Nov 10, 2024
EMBEERA y’okubeera n’oluggya olugazi ennyo egenda evaawo olw’enkulaakulana ereetedde ettaka okufunda abantu ne basigala mu buwugiro.

NewVision Reporter
@NewVision
EMBEERA y’okubeera n’oluggya olugazi ennyo egenda evaawo olw’enkulaakulana ereetedde ettaka okufunda abantu ne basigala mu buwugiro.
Kyonna kyekiri obufunda bwa poloti tebulina kukulemesa kubeera na kiragala waka omuli omuddo n’emiti oleme kufaanana ng’eyazimba mu ddungu.
Omukugu mu kutereeza amaka, Mariah Kiwagama agamba tewali nsonga lwaki omuntu akyabeera n’oluggya omutali kantu. Simba akalimiro k’ebimuli okyuse endabika y’awaka n’ekifaananyi eri abagenyi.
Kiwagama agamba osobola okutegeka ekifo abaana we bazannyira, enimiro y’enva endiirwa, ekifo we mutuula era buli kimu okitegeke mu kifo we kisaanira.
Genderera omanye entambula okakase ng’ekifo we muwummulira tekituukamu magulu ga njuba butereevu naddala essaawa z’olweggulo.
Ebintu nga enkuba n’empewo awamu n’enkula y’ekifo naddala akaserengeto. Ekintu kyolina okusookerako kwe kutereeza enkula y’ekifo kitereere bulungi nga tonasimbamu kintu kyonna.
Nga tonasimba kintu kyonna , kirungi okusooka okukola ku byetaaga okuzimba nga obukubo bw’ebigere, ekkubo ly’emmotoka.
Bwobimala oluvannyuma osobola okusimba omuddo n’emiti. Ebimu ku bintu by'otalina kubuusa maaso we waka okubeera n’ekitangaala, kuba amataala bwe gategekebwa bulungi ng’oggyeeko ekitangaala kyokka era ganyumisa awaka.
Olina okutegekayo akalimiro k’ebimuli ne bwe kabeera katono era okukateekako n’ebintu ebikaawula okuva ku bifo ebirala.
ENGERI Y’OKULONDAMU EBIMULI
Kiwagama agamba nti bwoba osimba ebimuli n’emiti osobola okukozesa ebintu byosobola okulya, ebimuli era okakase nga bisobola okumera ku ttaka lyo. Emiti emiwanvu mirungi okugiteeka emabega w’ennyumba bwe wabeerayo ekifo ekigazi.
Bwoba osimba ebimuli biriraanaganye oleme kubiwa nnyo mabanga kuba kino kitangira omuddo obutameraamu nnyo era n’okubirongoosa kwanguwa. Amabala agali mu bimuli makulu okakase nga malungi gyoli era kyandibadde kirungi ne gabeera mu bika ebyenjawulo.
Ebimuli n’emiti osobola okubifuna okuva mu bifo ebiwerako we bitundibwa ne bwe kubeera ku makubo agenjawulo mu bifo ebimanyiddwa.
Ebimuli osobola okubiteeka mu busuwa oba emikebe ebyenjawulo kuba ekirungi obeera osobola n’okubikyusa amangu okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala.
Ebisuwa bisobola okuba ebya pulasitiika, ebyemiti, ebyebyuma, ebbumba n’ebirala. Ebimu osobola okubiteeka waggulu ku bisenge ne byongera okuwa awaka empewo ennungi.
Kirungi okukozesa ensuwa enziri mu langi enzikivu okusinga ezaaka era si kirungi kutabiikiriza nnyo langi ziyitiridde.
Si kirungi kwerabira kunyiriza mabega wa nnyumba kuba abamu bakola ensobi ne banyiriza mu maaso, kyokka nga bwogenda emmanju wakuba encukwe. Olina okukakasa ng’ofukirira ebirime olubeerera era ogimuse n’ettaka libeeremu n’ebirungo ebisobozesa omuddo okumera obulungi.
No Comment