Alina emizigo kola bino abapangisa bo baleme kudduka

Apr 27, 2025

ABANTU bangi abalina amayumba basanze obuzibu olw’apangisa okusenguka buli olukya ekibaviirako okufiirizibwa nga  balowooza nti kyabulijjo.

NewVision Reporter
@NewVision

ABANTU bangi abalina amayumba basanze obuzibu olw’apangisa okusenguka buli olukya ekibaviirako okufiirizibwa nga  balowooza nti kyabulijjo. Abapangisa okuva ku nnyumba buli kiseera kibaamu obuzibu kuba buli asenguka aliko ebintu by’ayonoona by’oba olina okuddamu okutereeza.

Ekirala obeera olina okuddamu okutegeeza babbulooka abaliko omutemwa gwe batwala ku buli mupangisa ayingira. Waliwo abapangisa aboonoona ng’ennyumba yonna; asobola okugiwomoggola agannya n’okugubya ebisenge ng’omulala okugiddamu oteekeddwa kugula langi n’ebirala.

Emizigo eginyirira gisikiriza abapangisa.

Emizigo eginyirira gisikiriza abapangisa.

BIIBINO BYE WANDIKOZE
Nnannyini nnyumba alina okutwala ekiseera okwogera n’abapangisa ng’ababuuza obuzibu bwe basanga ku nnyumba.

Ebintu ng’amasannyalaze agavaako buli kaseera gasobola okugoba abapangisa ate ng’ekizibu kino kiva ku muti gw’amasannyalaze oguli mu luggya.

Buli mupangisa asaana abeere ne mmita ye asobole okumanya engeri gy’akozesaamu amasanyalaze ge. Tewali kintu kizibu ng’omuntu atasiiba waka okumusasuza ssente z’ezimu n’abalina ffamire nga basiibawo.

Ddaabiriza ennyumba ng’osinziira ku byetaago by’abantu abali mu kitundu. Obwetaavu bukyuka ng’olumu kisobola okusinziira ku nkulaakulana eri mu kitundu. Okugeza basobola okuzimba ennyumba okumpi nga zirimu byonna ebikozesebwa nga ne bbeeyi tetiisa, kyokka ggwe nga walemwa wadde okussaamu ebinaabiro by’omunda.

Fuba okuddaabiriza ebintu ebiba byonoonese. Olumu oyinza okuba nga tolina ssente kyokka abapangisa olina okukibategeeza bakugumiikirizeemu era bwofuna ssente okikole. Kino kibaleetera omutima okubabeera awamu kuba bamanyi ofaayo.

Kirungi okwewala okulinnyira abapangisa ekisukkiridde. Omupangisa olina okumulekera eddembe lye era weewale okumala gayomba nabo buli lw’ozze olw’obusongasonga.

Jjukira bano bantu bakulu abasobola okutegeera ng’oyogedde bulungi. Ying. Fred Jjuuko Wavamuno owa Jjuuko Constructions Uganda Limited agamba abantu abamu bazimba ennyumba nga zirabika bulungi, kyokka endabirira ne batagifaako. Tewali muntu atayagala wantu walabika bulungi w’akyaliza abagenyi nga tebajja kumugeya.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});