Engeri gy’omanya obungi bw’amazzi g’olina okunywa olunaku
Aug 01, 2021
OMUBIRI gwo gwetaaga amazzi ekigusobozesa okutuukiriza emirimu gyagwo obulungi.

NewVision Reporter
@NewVision
Dr. Paul Kasenene, omukugu mu kujjanjabisa emmere okuva mu Wellcare Health and Wellness agamba nti, ng’oyagala okumanya obungi bw’amazzi g'olina okunywa, funa obuzito bw’omubiri gwo obugabanyemu 30, kikuwa ekipimo bya liita z'amazzi g’olina okunywa buli lunaku.
Nnywa amazzi agawera okuume obulamu
Kyokka bw’oba tokoze ekyo, buli luvannyuma lw’essaawa ssatu oba nnya, nywayo eggiraasi z'amazzi bbiri ng’oganywa mpolampola.
Kyokka amazzi gano osobola okuganywa mu ngeri ez'enjawulo omuli; okunywa caayi, okukamula ebibala nga wootameroni, ebikajjo, omucungwa, n’ebirala n’onywa omubisi, osobola okulya ebibala ebirimu amazzi amangi oba okunywa amazzi amakalu. Bino byonna biyamba okwongera amazzi mu mubiri.
No Comment