AGAFA KU BIDDUKA; W’otegeerera nti alternater yeetaaga kuddaabiriza
Aug 04, 2021
EBISEERA ebisinga alternater eraga obubonero nti enaatera okufa oba yeetaga okuddaabiriza, erina akataala k’eraga ku ‘Dash board’ y’emmotoka akategeeza ddreeva nti essaawa yonna alternater bw’etafiibwako eyinza okwonooneka.

NewVision Reporter
@NewVision
Kyamakulu nnyo buli luvannyuma lwa myezi mukaaga ddereeva okutwala mmotoka ye ewa makanika okugyekebejja okulaba embeera ki gy’erimu nga ssinga alternater esangibwa mu mbeera etali nnungi eyinza okuddaabirizibwa oba okukyusibwa.
Alternater bw'efaanana
Newankubadde nga ya mugaso nnyo eri emmotoka za “Auto, ” abavuga emmotoka za manual bo tebakosa olw’ensonga nti oba kweri oba teriiko tesobola kulemesa mmotoka kutambula nga bbaatule omuliro kwe guli.
Ndugwa yategeezezza ng’emmotoka bw’esobola okutambula okuva e Kampala okutuuka e Masaka nga wadde alternater tekola ekitali ku kika ky’emmotoka za “Auto”.
No Comment