Eyiyinza okubuza amabeere
Situleesi ebuza amabeere :
Maama ng'ayonsa omwana we
Omwana nga tasobola kuyonka: Amabeere bwe gabeera mangi naye ng’omwana tagayonse, kitegeeza nti, omubiri tegujja kukola malala kuba gy’okoma okuyonsa n’amabeere gye gakoma okujja.
Oluusi gayinza okuba mangi ng’omwana tasobola kugamalamu oba ng’omwana tayonse naddala nga mulwadde.

Omwana bw'aba tasobola kuyonka mukamulire amabeere ogatereke bulungi
Maama okubirizibwa okugakamula n’agatereka mu firiigi oba n’omuweerako ku kagiiko. Kubanga bw’otogakama ebbeere lirwala ne lifuna ebbanyi oba okukamiza amabeere ne gaggweeremu ddala ng’omwana takyasobola kufuna ky’ayonka.
Amabeere agakamulibwa gateeke mu kikopo ekiyonjo ogatereke mu firiigi. Bw’otuuuka okugabirira omwana, gateeke mu mazzi agabuguma gabugume olyoke omugabirire.
Obutamanya kuyonsa:
Bamaama naddala nga gwe mulundi gwe ogusooka okuyonsa, balina ebbeere eribanguyira okuyonsa nga lyokka ly’ateekako omwana ekireetera amabeere okubula mu Lyokubiri ne gabulira ddala mu mbeera eno, amabeere gombi gayonse kyenkanyi galeme kubula.