Omulimi anaafuna mu ffaamu ye olina kwekwata nsigo nnoongooseemu
Sep 30, 2021
OKUSIMBA ensingo ennongooseemu kikulu nnyo eri omulimi atwala omulimu gw’obulimi nga bizinensi okumusobozesa okufunamu.

NewVision Reporter
@NewVision
Patrick Oyee akulira ekitongole kya ISSD, agamba nti kikyetaagisa okusomesa abalimi omugaso gw’okusiga ensigo ennongoseemu kuba bangi bakyasimba ensigo ze baterese okuva ku makungula ga sizoni ebeera eyiseewo.
“Ensigo ennongoseemu zokka zongeza amakungula okutuuka ku bitundu 40 ku 100. Okugeza singa singa obeera osimba yiika gamba ebijanjaalo, okusimba ensigo ennongoseemu kiyinza okukutwalako obukadde buna n’emitwalo 44, ate ng’ensigo za bulijjo okozesa obukadde bubiri n’emitwalo 40.
Ensigo z'obummonde ennime
Agamba nti buli yiika akozesa ensigo ennongoseemu asobola okukungula kkiro 15,000 ate ng’owesingo za bulijjo kkiro 5,000 nga singa bombi batunda ku 2,000/- buli kkiro okutwaliza awamu, ow’ensigo ennongoseemu afuna obukadde 30 ate ‘wensigo za bulijjo obukadde 10 nga kitegeeza nti omu afuna amagoba ga mitwalo 75 ate omulala obukadde 25”, bw’annyonnyola.
Omu ku balimi b'ensigo ennongoseemu ng'asomesa abalimi abalala lwaki balina okukozesa ensigo ennungi.
Olw’okuba kkampuni ezituusa ku bantu sigo z’omutindo ntono mu ggwanga ate nga mu masoso gomu byalo zaali tezituuka, aba ISSD baatandika okuteekateeka abalimi b’ensigo kw’ossa okukolagana ne gavumenti okussaawo ensigo ezikakasiddwa (quality Declared Seed), ezirimibwa nga zigoberera emitendera egirambikiddwa era ne ziguzibwa abalunzi ab’enjawulo.
No Comment