'Obupangisa tebunnemesezza kuyiiya'

Oct 25, 2021

EBISEERA ebisinga abantu bagamba nti, ssente zibuze era n’emirimu gyagaana, wabula abalala basalawo okukozesa amagezi ge babeera bayigidde ku bannaabwe oba ku mikutu gya yintaneeti olwo ne babaako ne kye bakola okuzifuna.

NewVision Reporter
@NewVision

Teopista Achieng, omu ku bantu abakozesa omukutu gwa yintaneeti obulungi nga ono aguyigiddeko ebintu nga okulimira mu luggya, w’asula.

Achieng apangisa omuzigo e Bweyogere era nga buli mwezi asasula 150,000/- naye zino tezimumenya.

Alundira w’asula era n’alima n’enva endiirwa nga sukumawiiki, lettuce, strawberry, ennyanya era n’obutungulu, nga bw’asomesa n’abalala okubikola.

Teopista bw'afaanana

Teopista bw'afaanana

Entandikwa

Achieng agamba nti, yazaala omwana mu 2019 era nga yalina omulimu mu MTN. Agamba nti, bwe yamala okuzaala yanoonya yaaya okulabirira omwana we obulungi naye ow’ebisaanyizo bye yali ayagala teyamufuna.

Kino kyamuwaliriza okulekulira omulimu gwe n’asalawo okutuula awaka asobole okulabirira omwana we. Ng’avudde mu bwannakawere, yeesanga ng’amala obudde bungi awaka nga talina ky’akola okuggyako okulera omwana.

Achieng yasalawo okubeerako ne ky’ayiiya okulaba ng’afuna ebintu ky’asobola okukolela awaka. Ono yagenda ku mikutu emigattabantu (social media) n’azuula ng’abantu baali bettanidde okulimira ebintu eby’enjawulo awaka.

Achieng yasalawo naye akole ekyo naye yali tamanyi ngeri ki gy’ayinza kukikola bulungi. Era yeeyambisa yintaneeti okusoma ku ngeri entuufu omuntu gy’asobola okulimira awaka.

“Yintaneeti yannyamba nnyo era ne nsalawo okukozesa ssente ze nali nterese, olwo ne nsobola okutandika okulimira we nsula,” Achieng bw’agamba.

Yatandikira ku nva endiirwa olwo n’alyoka adda ku kulunda obumyu era nga kati teyejjusa. Bino bimukoledde ssente era nga zino zimuyamba okwetuusaako buli ky’ayagala.

Agamba nti, yeefuga ate ng’afuna kinene ddala. Akubiriza abakyala okubeera abayiiya olwo basobole okubeera abasanyufu mu bulamu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});