Abamu babadde bagufudde musono ‘oguliko’ wabula ng'abalala babadde bazeeyambisa mu bubbi n'obutemu nga kuzibu okuzeetegereza olwa nnamba ppuleeti zaazo okuba nga zitunudde mu ngeri etali ya bulijjo.
Ezimu ku bbooda ezaakwatiddwa
Ppikippiki ezikunukkiriza mu 100 ze zaakakwatibwa poliisi y'e Kajjansi ku Lwokubiri ku makya era ng'abamu ku babadde bazivuga abaakwatiddwa balindiridde kutwalibwa mu kkooti.
Lawrence Niwabiine akulira poliisi y'ebidduka mu ggwanga yagambye nti waliwo okutyoboola kwa nnamba puleeti mu b’ebidduka. ‘Nnamba ppuleeti ku buli kidduka zirina okusibibwako mu butuufu bwazo nga buli muntu asobola okuziraba,’ Niwabiine bwe yagambye.
Omuserikale ng'aliko by'ayogera n'owa bbooda
Yalabudde ku mmotoka ezitemwako nnamba naddala eza ttakisi oluvannyuma lw'okusangibwa nga ziriko ebyetaagisa okukola wabula baddereeva baazo ne basigala nga bakyazivuga okusaabaza abantu kuba kino kyabulabe era ababbi bayinza okweyambisa omukisa guno.
Bodaboda ezaakwatiddwa poliisi y'e Kajjansi ku Lwokubiri