Yiiya ssente: ekyalaani kinyambye okwekulaakulanya n’okuwa abalala emirimu

Nov 14, 2021

 BAGAMBA enswa bw’ekyusa amaaso nga naawe okyusa envubo, bwekityo ne mu mirimu okusobola okufunamu olina okutetenkanya ennyo okulaba nga ne mu kaseera ak’okusomoozebwa omulimu gwo tegugwa wabula oyiiya engeri endala ey’okugufunamu.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Benjamin Ssemwanga

 BAGAMBA enswa bw’ekyusa amaaso nga naawe okyusa envubo, bwekityo ne mu mirimu okusobola okufunamu olina okutetenkanya ennyo okulaba nga ne mu kaseera ak’okusomoozebwa omulimu gwo tegugwa wabula oyiiya engeri endala ey’okugufunamu.

Beatrice Abenakyo omutuuze mu Kakande Zooni e Buziga mu munisipaali y’e Makindye agamba ekirwadde kya COVID 19 kyataataganya omulimu gwabwe ogw’okutunga kubanga ssente baali bazifuna mu kutunga yunifoomu z’abaana ba masomero n’ebifo ebisanyukirwamu.

Naye bino byonna byaggalwawo oluvannyuma lw’okulumbibwa ekirwadde kino wabula kino tekyabalobera kuyiiya ssente mu ngeri endala nga muno mulimu okutunga obusawo bw’abakyala, kapeti ez’awaka, amasaati g’abantu ssekinoomu nga kw’otadde n’ebintu ebirala ebisikiriza okutunga mwe basobodde okufuna akasente akawera.

Entandikwa

Beatrice agamba mu kutandika aboomukwano bana baasonda ssente buli omu n’aleeta zebaatandikirako wakati wa 500,000/- ne 700,000/- bwebatyo ssente zino zaabayambako okubaako bye bateekawo ebibayamba okutunga omuli ekyalaani ne matiriyo atandika.

Bano baakola kino okumala ebbanga, okutuuka lwe bafuna looni ya bukadde 11, ssente zino ne zibayambako okugaziya omulimu gwabwe okutuuka okutunga ekinene.

ENFUNA

Mu kutunga nfunamu akasente akasanyusa kubanga nsobola okugula matiriyo ku mitwalo 30,000/- wabula ate olugoye olwo ne ndutunda emitwalo 50,000/- ne mbeera nga nfunyeeko emitwalo 20,000/-ng’ amagoba.

Omulimu gutuyambye nnyo mu kitundu kubanga okuva lwe twatandika twafunayo ne bannaffe abalala basatu betusobodde okuwa emirimu.

Tutunga obuntu obuyingiza ssente era obusikiriza nga muno mulimu obusawo bw’abakyala bwe tutunda ku 10,000/-, kapeti z’awaka ku 15,000/- ne 20,000/-. Okusinziira ku bunene bwazo.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});