Ekibalo ky'okufuna mu kulima obutunda

Dec 28, 2021

OKULIMA obutunda emu ku bizinensi ezikutte akati ennaku zino ng’abantu mu bitundu eby’enjawulo babwettanira okubulima anti bwangu ate nga budda mu buli kitundu mu Uganda.

NewVision Reporter
@NewVision

Bashir Mayiga omulimi w’obutunda ow’erinnya nnannyini Bwasandeku Mixed Farm e Kalungu eyawangula empaka z’Omulimi asinga ezitegekebwa Vision Group etwala ne Bukedde agamba nti omuntu anaafuna mu kulima obutunda olina okutegeera emitendera gyonna egitibwamu.

Weetaaga okutunuulira ekika ky’obutunda ekisinga akatale naddala mu bantu ba bulijjo.

“Ffe tulima kika kya UPF12 nga ekika kino kirina obuwoomi obw’enjawulo, akawoowo kwossa okubala ekiwera”, bw’agamba. Mayiga ng'ali mu nnimiro y'obutunda bwe

Mayiga ng'ali mu nnimiro y'obutunda bwe

Ng’omaze okulonda ekika, weetaaga ettaka kuba akatunda kalimirwa ku ttaka. Otandika okulongoosa ettaka ng’osaawa, okufuuyira oba okukozesa tulakita okusaawo. Okusaawo kiyinza okukutwalako 100,000/-, okufuuyira 130,000/- ate tulakita 100,000/- okusinziira mu kitundu w’oli.

Bw’obeera omaze okwekakasa okulima obutunda, osobola okwesimbira endokwazo. Kyokka bw’obeera otandika, noonya w’osobola okugula endokwa nga buli emu ya 1,500/- era yiika etwala endokwa 750 ng’osimbye mu fuuti 8 ku 8 olwo n’obeeta nga wetaaga 1,125,000/-.

Wano nga bafuuyira

Wano nga bafuuyira

Wabula naawe atalina ssente oba ttaka ddene, osobola okulina ekitundu kya yiika nga wetaaga endokwa 375 nga kitegeeza nti wetaaga 562,500/- so nga naawe owa kwota osobola okusimba 188. Ng’omaze okusimba wetaaga ensawo z’ekigimusa kya NPK nnya (4) eza kkiro 50 nga buli emu ya 150,000/- mu myezi omukaaga.

Wano osaasaanya 600,000/- okusimba yiika ate ow’ekitundu 300,000/- ate ggwe agenda okusimba kwota wetaaga 150,000/-.

Mu yiika ogenda kwetaaga abakozi babiri nga buli omu omusasula 150,000/- omwezi olwo kitegeeza nti mu myezi mukaaga ogenda kusaasaanya 1,800,000/-. Ggwe ow’ekitundu kya yiika wetaaga omukozi omu nga kitegeeza ogenda kusaasaanya 900,000/- mu mwezi omukaaga.

Mu yiika weetaaga enkondo 620 nga buli emu egula 4,000/- olwo nosaasaanya 2,480,000/-. Mu kitundu kya yiika wetaaga enkondo 310 olwo n’osaasaanya 1,240,000/- ate owa kwota wetaaga enkondo 155 olwo n’osaasaanya 620,000/-.

Wetaaga obutimba obuvuba engege obukadde 20 nga buli kamu ka 30,000/- olwo osaasaanye 600,000/- ate nga ow’ekitundu kya yiika wetaaga obutimba 10 n’osaasaanya 300,000/- ate owa kwota wetaaga 5 olwo n’osaasaanya 150,000/-.

Wetaaga loolo za waya nnya nga buli emu egula 135,000/- olwo n’osaasaanya 540,000/- mu yiika. Ow’ekitundu kya yiika wetaaga loolo bbiri n’osaasaanya 270,000/- ate owa kwota wetaags loolo emu ku 135,000/-.

Weetaaga emisumaali gya 100,000/- owa yiika olwo ow’ekitundu n’osaasaanya 50,000/- ate owa kwota 25,000/-. Okutwaliza awamu okusimba yiika weetaaga obukadde munaana okutuuka okukungula nga ow’ekitundu weetaaga obukadde 2 ate owa kwota weetaaga akakadde kamu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});