Emboozi

Kola wayini mu kkooko oyongeze ku nnyingiza yo

OMUBISI oguva mu kkooko bugagga abalimi bwe bamaze ekiseera nga bayiwa olw’obutamanya ngeri ya kugukamula kw’ossa okugwongerako omutindo guveemu bye basobola okutunda okwongera ku nnyingiza.

Kola wayini mu kkooko oyongeze ku nnyingiza yo
By: Herbert Musoke, Journalist @New Vision

“Okukendeeza ku bungi bw’omubisi ogusangibwa mu kkooko tekyonoona mutindo wabula ate kyanguya okumubikka n’okuggya amangu.

Wano kozesa ekyuma ekya sitiiru atatalagga (Stainless steel), eky’omutindo ogukozesebwa mu by’okulya okukamula omubisi nga tuggyamu ebitundu 20 ku 100 eby’obuzito bw’ensigo eziteekeddwamu. Okugeza ssinga ossaamu kkiro 60 oggyamu liita 12”, bw’annyonnyola.

Kkooko ng'akyali mubisi

Kkooko ng'akyali mubisi

Okufuna omubisi gw’omutindo olina kukozesa kkooko eyaakanogebwa nga mulamu bulungi ate n’okakasa nti omukubira mu kifo ekiyonjo  olwo n’omubisi n’ofuna omuyonjo. Omubisi guno osobola okugukozesa okukola wayini wa kkooko, okugutunda eri abagunywa nga bwe guli, okufumba walagi n’ebirala.

Omubisi guno osobola okugutunda ne gunywebwa butereevu oba okugweyambisa okukola wayini ng’okuyita mu mitendera ekiyitibwamu okukola wayini.

Wayini gwe bakoze mu kkooko bw'afaanana

Wayini gwe bakoze mu kkooko bw'afaanana

Tags:
Emboozi