Dr. Jolly Kabirizi agamba nti kino kikyamu kuba omuddo okuliisibwa ensolo gulina okulabiriwa mu ngeri y’enjawulo ng’ebirime by’emmere ebirala kubanga y’ebeera emmere y’ente ng’erina okubeeramu ebiriisa n’ebirungo ente bye yeetaaga okukula obulungi n’okuvaamu amata.

Abalunzi nga basomesebwa ku bika by'omuddo gwe balina okulima.
“Omuddo gwe tulima okuliisa ensolo tegulina kutwalibwa nga muddo gwe tukoola mu birime wabula ng’ekirime ekirala kyonna eky’omuwendo nga tumanya ebika ebituufu, okufuna ensigo ennungi, okuteekateeka ennimiro, okulondoola obugimu, okugukoolera, okulwanyisa obulwadde n’ebiwuka okutuuka ku ntereka entuufu olwo ensolo zigufunemu,” bw’agamba.
Ebika by’omuddo
Dr. Kabirizi agamba nti waliwo ebika by’omuddo ebisoba mu 20 kyokka ggwe agenda okugusimba olina okumanya ebiriisa ebiri mu middo egy’enjawulo olwo osobole okusimba ebika ebigenda okuwa ensolo zo ebiriisa emibiri gye byetaaga.
Agamba nti okunoonyereza kwe yalimu ng’ali n’ekitongole kye ekinoonyereza ku nsolo ekya National Livestock Resources Research Institute wansi w’ekitongole ekitwala okunoonyereza mu bulimi n’obulunzi mu ggwanga ekya National Agricultural Research Organization (NARO) bazuula emiddo egirimu ebiriisa ebizimba omubiri n’egirimu ebiwa ensolo amaanyi.
Emiddo egirimu ebirungo ebiwa ensolo amaanyi kuliko; ebisagazi naddala ekika kya Pakchong 1 super napier, masooli naddala ekika kya Tembo, omuwemba (Sugar graze), Croris gayana n’omulala.
Ng’omaze okufuna amaanyi, weetaaga ebirungo ebizimba omubiri nga bino osobola okubifuna mu muddo nga; Alfa Alfa (ogwefaanaanyiriza ebinyeebwa), Katambura n’omulala. Kuno gattako ebibowabowa era olina kubitabulamu mu bipimo bitono era nga bw’olaba omuntu bw’alya ennyama oba emmere endala erimu ekirungo ezikizimba omubiri.