Yiiya ssente ; Ziizino bizinensi z'oyinza okukolera mu luggya lwo
Sep 29, 2022
MIKE Mukasa akozesa 15,000/- buli wiiki okusaawa oluggya lwe n’okuluyooyoota okulabika obulungi.

NewVision Reporter
@NewVision
Ate muliraanwa we, nnaalongo Luyinda olwalibadde ng’oluggya yasimbamu olusuku mw’atema enkota z’amatooke 4 ku 6 buli wiiki.
Atundako agamu amalala ne bagalya. Ku mmere gy’afuna agattako obutagula ndagala za kufumba, nga ne sizoni ezimu asimbamu ebijanjaalo ne Kasooli ate bw’ayagala enva endiirwa tazigula kubanga weeziri. Oosobola okuteekawo ekifo abaana we bazannyira n'ofuna ssente.
Nnaalongo agamba nti mu kifo ky’okusaasaanya ssente ng’ayooyoota oluggya lwe yasalawo kulukolamu ssente. Ate emmanju alundirayo enkoko ezimuwa amagi g’okulya n’okutunda era agamba nti ssente z’afuna zimuyambye okumubeezaawo n’obutakaluubiriza Ssaalongo we ng’amusaba ssente z’akameeza.
Osobola okukolamu oluggya we bakolera emikolo.
Ono tali yekka. Abantu bangi abatandise okukolera bizinensi ez’enjawulo mu mpya zaabwe naddala mu biseera bino nga KCCA egobaganya abatembeeyi okuva ku nguudo, ebisale by’entambula okulinnya n’abamu okusalwako ku mirimu.
Zino ze bizinensi endala z’oyinza okukolera mu luggya lwo oba awaka.
Funa ekyalaani otandike okutunga.
Bw’oba muntu mukulu, kiyinza okukutwalira wakati w’emyezi esatu ku mukaaga okusoma okutunga. Bw’omala teweetawaanya na kunoonya w’okolera, ekyalaani kiteeke awaka mu galagi otandike okuyiiya obulamu. Abantu b’ekyalo bwe banaakutegeera naddala ng’otunga emirimu emirungi, bajja kukweyambisa.
Mu luggya osobola okuteekawo olusuku oba w'olimira enva endiirwa.
Kola edduuka Bw’oba ennyumba yo eri kumpi n’ekkubo ng’era waliwo abantu bangi abayitawo, osobola okukola edduuka eritunda ebintu bya bulijjo oba engoye. Bw’onooba omanyi engeri gye bakwatamu bakasitoma, ojja kukola ssente weeyagale.
Tandika bbekale.
Bw’oba omanyi okufumba emigaati, sumbuusa, donate n’ebirala osobola okutandika bbekale. Ebintu by’okola oyinza okubiguza ab’oku kyalo n’oluvannyuma n’onoonya ab’amadduuka b’oguzaako. Ssente mweziri kubanga abantu batawaana nnyo n’eby’okulya ku caayi.
Tandika omudaala gwa chapati Wano tekitegeeza nti ggwe agenda okuzisiika. Funa omwana omuwe ebikola akuyambeko. Wabula naawe olina okufaayo ku ntabula y’ebirungo n’engeri gyazisiikamu okulaba nga mukola ekintu ekiri ku mutindo. Abantu baagala nnyo ebintu ebiwooma. Tandikira ku baneyiba n’oluvannyuma onoonye akatale awalala.
Osobola n'okulundirawo enkoko zo.
Lunda enkoko Bw’oba olina w’ozimba akayumba k’enkoko, tandika okulunda. Lwakuba nti ennaku zino emmere y’enkoko ya buseere, naye yali bizinensi nnungi ku muntu abeera awaka. Ne bw’obeera n’enkoko z’amagi 200 ezibiika, osobola okuffisa 15,000/- buli lunaku eziyinza okukuyamba okugula ebintu by’awaka ne ffiizi z’abaana nga nammwe bwe mulyako.
Bw’oba tolunze z’amaggi osobola okulunda eza Kroiler n’ozitunda.
Teekawo ekifo we bategekera emikolo Bw’oba wateeka ssente mu luggya lwo n’olutegeka bulungi, osobola okutandika okutegekerawo emikolo n’obubaga. Wabula olina okwawula kaabuyonjo n’ennyumba abantu bye bakozesa nga bazze. Oteekwa okuba ng’olina n’obukuumi obumala.
Tandika ekifo ekikuuma abaana
Ennaku zino abantu bangi batawaana n’abantu be balekera abaana baabwe. Osobola okulongoosa galagi oba okuzimbawo ennyumba endala n’otandika ekifo w’okuumira abaana abato. Olina okuba omuyonjo n’okufuna abakozi abaagala abaana.
No Comment