Akeezimbira ; Ayagala okugula poloti omuli ennyumba sooka omanye bino

Oct 04, 2022

EBYENFUNA gye bikomye okukaluba ne Bannayuganda buli lukya bayiiya engeri y’okuyita mu mbeera era we twogerera abamu batandise okwettanira enkola ey'okugula poloti ezirimu amayumba eng'emu ku ngeri y'okukedkkereza. 

NewVision Reporter
@NewVision

Enkola eno yettaniddwa nnyo abantu abali mu bupangisa n’abalina ffamire ennene kyokka ng'ensi bw’eri yakuteeteekanyan, waliyo abakanudde amaaso okunyaga abantu abeetanidde enkola eno.

Leero tukuleetedde ebintu by’otolina kubuusa maaso ng'ogula poloti omuli ennyumba. 

Poloti ng'eno eraga erimu enkaayana.

Poloti ng'eno eraga erimu enkaayana.

Faayo okunoonyereza ku bwannanyini ku ttaka eryo okwewala okufiirwa ssente oba okuyingira mu ntalo ezitakoma. Abamu batunda ennyumba zaabwe olw'enkaayana naddala abafumbo n'olwekyo kikulu nnyo okusooka okunoonyereza nga tonnasasula okumanya obwananyini obutuufu.

Kikulu okumanya ebbanga ennyumba ly’emaze ng'ezimbiddwa n'ensonga lwaki etundibwa, ezimu zibeeramu ebizibu oba nga baazikoleramu ebikolobero.

Ennyumba ng'eno bwogigula oba obuzaako kuggala na kukupa pulasita.

Ennyumba ng'eno bwogigula oba obuzaako kuggala na kukupa pulasita.

Ekkubo erikutuusa ku nnyumba;Abantu abamu olw'okuba babeera tebazimbangako bafuna okucamuukirira ne batafaayo ku nsonga y'ekkubo naddala mu bitundu eby'omugotteko ne beesanga nga basigadde mu buzibu.

Eby'okwerinda;Buli muntu yeegomba okubeera mu kifo ng'amanyi alina obukuumi obumala kyokka kino abantu abamu tebakirowoozako nga bagula ennyumba zino.

Oluggya; omuntu alina ffamire ne mmotoka kikulu okugula ennyumba erina sisobola okusimba mmotoka yo okwewala omusolo gwokusasulira ppaakingi ogwabuli lunaku.

Ying. Kayemba annyonnyola ebimu ku by'olina okwetegereza.

Ying. Kayemba annyonnyola ebimu ku by'olina okwetegereza.

Ekika ky’ennyumba; Buli muntu alina ennyumba ey’ekirooto kye okusinziira ku nfuna ye ne ky’ayagala okugikozesa. omuntu omusuubuzi okugeza ow’edduuka wandibadde otunuulira nnyo ennyumba eza bizinensi eziri okumpi n’amakubo agayingiza n'okufulumya abantu.

Obwannannyini ku ttaka; Faayo okumanya okika ky’ettaka okuli ennyumba gyogenda okugula okugeza lya Bwakabaka oba ,kyapa era ofube nnyo okulondola okuzula amazima.Bweba endagaano weyambisa balirwana n'Abakulembeze mu kitundu okuzula nanyini omutuufu olemwe okuferebwa.

Obwetaavu bw’ebintu ebikozesebwa mu bulamu obw’abulijjo okugeza amasomero, amalwaliro, amasinzizo, amazzi, amasannyalaze ebintu bino bikulu nnyo okubitunuulira nga tonnagula poloti erimu nnyumba okwewala ebizibu ebiyinza okuddirira.

Emiriraano gy'ekifo ky’ogula; Embeera eno ekiwa omukisa okusalawo ku b’ani b’oyagala okubeera baliraanwa bo. Abantu abamu tebaliranika okugeza abasamize, ebbaala, amasinzizo naddala agabalokole abasaba emisana n'ekiro.

Kyangu okwewala okutomezebwa naddala okugula mu bifo by’entobazzi kubanga ofuna omukisa okumanya entambula y'amazzi. Abantu bangi baguze poloti mu biseera eby'omusana ne batomezebwa oluvannyuma lw’okukizula nti ntobazzi mu nkuba.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});