Yiiya ssente ; Engeri gy'onoga ssente mu kutunda enku

Oct 05, 2022

OKUTUNDA enku y’emu ku bizinensi eziteetaagisa ssente nnyingi okutandikibwawo nga ku mitwalo 10 osobola okwetandikirawo omulimu.

NewVision Reporter
@NewVision

Annet Nabisere, omusuubuzi w’enku e Nateete Kuttaano amaze emyaka 14 ng’akola omulimu guno agamba nti yatandika ne kapito wa mitwalo 30 wabula kati akozesa bukadde era ng'asobodde okuyamba banne abalina kapito owe mitwalo 10 okwetandikirawo emirimu.

Ono agamba nti okwawukanako n'abalala abagula ebibira ne beesalira enku ye alina abazimuleetera gw’azisuubulako mu bibajjo.

Yagambye nti ng’oggyeeko embeera y'ebyenfuna omumyuka naye emabegako ebibajjo 100 abadde abisuubula 15,000 kyokka kati olw'ebbula ly'enku n'obwetaavu bwazo okweyongera ebibajjo 100 babimusuubuza ku 35,000 olwo ye natunda buli kibajjo 500 n’afunamu emitwalo 50,000 ge magoba ga 15,000.

Nabisere agamba nti mu kiseera kino ekyenkuba enku zitambula nnyo kyokka olw'embeera ya makubo ne bbeeyi y’amafuta ennaku zino ntono era ezijja.

Wabula ono agamba mu biseera bino ebyenkuba kirungi n’ofuna amatundubali oba ebiveera n'obika enku .

Annet Nabiseere ng'alaga ezimu ku nku z'atunda.

Annet Nabiseere ng'alaga ezimu ku nku z'atunda.

Ku bibajjo ono agattako okusuubula obuloddo nga buno bbeeyi ebeera yakutegeragana okusinzira ku sayizi.

Buno bw’oba waakubwasaamu bibajjo agamba nti ebibajjo 100 babyasizza e 4,000 era ng'ono asinga kutunda nku za kalitunsi okuva mu disitulikiti okuli Mityana, Mubende ne Kyenjojo.

Ono agamba nti bizinensi eno agifunyeemu ebirungi okuli emizigo, okusomesa abaana be n’okubalabirira naye okwebeezaawo ne bakadde be.

Nabisere aguza abasuubuzi n’abalejjalejja. Mu kifo w’akolera waliwo abantu 6 kyokka agamba bonna bakola era ye Ssaalongo James Jjemba agamba nti omulimu agumazeemu emyaka 10 kyokka teyejjusa kuguyingira olw'ebirungi by’agufunyeemu.

Ono okwawukanako ne Nabisere ye agula kibira ne yeesalira enku wabula agamba enkola eno oyinza okufiirwa oba okufuna kubanga olumala okulambula ne mukkaanya ne nnannyini kibira ng'omusasula nga gwe otandika kusala miti.

Ssalongo James Jjemba omusuubuzi w'enku e Nateete.

Ssalongo James Jjemba omusuubuzi w'enku e Nateete.

Agamba nti yadde enkola eno erimu emisoso ng'okugula amafuta,o kupangisa masiini n'omusalamala,okusomba ,okuttika n'okutambuza enku, naye ofunamu anti tolina kyofiirwa ate obeera wa ddembe emiti okugikolamu kyonna ky’oyagala.

Enkola eno Jjemba agamba emusobozesa amatabi okugatunda mu binywa era ng'ekinywa ono akitunda wakati 3,000 ne 5,000 okusinziira ku bunene.

Wabula agamba emiti gikendedde nnyo olwa kkampuni za ba China ezikola Ply wood ezeeyongedde mu ggwanga ezigula ebibira, ssaako abookya amanda n’abasala embaawo ne bbuliti mu miti gino.

Ayongerako nti ennaku zino,  okufumbira kunku tekukyali kwa baavu  nga bwe kyali emabegako kubanga n’amanda ga bbeeyi ate ng’enku zikekkereza okusinga ku Mmanda, zeettanirwa ab’amasomero n’abookya amatoffaali.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});