Engeri omukozi gy'ayinza okusuula bizinensi yo

Nov 15, 2022

OBUBBI emu ku nsonga eviirako bizinensi za Uganda okugwa wadde ng’ekitongole kya Global Entrepreneurship Monitor kyalangirira Uganda ng’ensi esinga okubeeramu abantu abatandika bizinensi buli lukya.

NewVision Reporter
@NewVision

Robert Ssenkasi Kakeeto omusomesa w’ebyenfuna ku Makerere University Business School (MUBS) era nnannyini dduuka lya masimu ekya Trustfones Uganda mu Kampala, agamba nti ebimu ku bisinnze okusuula bizinensi z’abantu nga tebategedde kubeera kubbibwa.

Kakeeto (wakati) mu dduuka lye ery'amasimu.

Kakeeto (wakati) mu dduuka lye ery'amasimu.

“Edda natandikawo bizinensi ku kisaawe kya Nakivubo nga nnina omuntu gwe neesiga. Oluvannyuma lw’aseera Nakivubo n’egaba liizi y’okuzimba obuyumba obulala nga ew’omusajja oyo gwe tulina okunoonya.

Natwala omuvubuka nga mulaga wo nga mmuwa ssente kuba nali bbize era ye yasasula wadde lisiiti baagissa mu mannya gange. Byonna ebikwata ku dduuka ye yabikolanga.

Emyezi mukaaga gye twasasula okusooka gyali gibulako omwezi gumu, n’asasula emirala mukaaga mu mannya ge ngenda okudduka eri bannannyini maduuka ne bantegeeza nti bbo tebammanyi bamanyi mukozi.

Nagenda ku poliisi ne nzigulawo omusango ku CPS. Wabula omuwaabi wa gavumenti yawabula nti okusinziira ku biriwo, emmaali eri mu dduka byange wabula edduuka/ekifo kya Sam. Wano yali amaze era nakwatamu bwange n’omukulu assaamu mmaali ng’edduuka litojjera”, bw’anyumya.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});