Asiika obulamu ; Endwadde z'amatu n'ebizireeta

Dec 14, 2022

"Yinfekisoni, okusesema, ebbugumu n’okwokya okuyitiridde bivaako amatu g'abaana okuziba.."

NewVision Reporter
@NewVision

AMATU by’ebimu ku bitundu by’omubiri eby’omuwendo ate nga bya luwewere era nga byetaaga okufiibwako ennyo wamu n’okukwatibwa mu ngeri ey’obwegendereza.

Omukugu mu kujjanjaba amatu ku ddwaliro e Lubaga, Dr. Edrisa Kabazzi, agamba, waliwo endwadde za mirundi mingi ezikwata ekitundu ky’okutu eky’oku ngulu kye tulaba n’amaaso gaffe.

Mu zo, mwe muli akawulukutu, nga kano kabeerawo nnyo mu bantu abasokoola amatu ssaako n’abo abagenda okuwuga naddala abo amazzi be gayingira mu matu ne galwamu.  

Abanyumirwa okuwuga musaanye okwegendereza kubanga amazzi agasigala mu matu ng'owuze gazaala endwadde y'akawulukutu.

Abanyumirwa okuwuga musaanye okwegendereza kubanga amazzi agasigala mu matu ng'owuze gazaala endwadde y'akawulukutu.

Dr. Kabazzi annyonnyola nti okutu kweyonja kwokka naddala mu bitundu byakwo eby’omunda. Era nti, okulwanyisa envumbo (wax) okugiggyayo nti ogimalamu oba ogaleetera okulwala.

Yayongeddeko nti envumbo erimu ekirungo ky’eddagala eritta obuwuka obuleeta yinfekisoni mu matu, ate nga eziiza n’ebintu ng’ebiwuka, enfuufu n’ebirala obutayingira mu matu.

Naye, yadde envumbo nnungi, Dr. Kabazzi agamba nti esobola okuyitirira n’owulira ng’okutu kukuzitoye, n’ekendeeza empulira yo, oba n’ekuzibira ddala amatu.

 Esobola n’okukuviirako okuwuuma mu matu, kamunguluze n’okukuleetera obulumi mu matu, era nti mu mbeera bw’eti envumbo eba esaana kutwala mu bakugu nebagikendeezaako.

Okusinziira ku Dr. Amina Seguya, omukugu mu kujjanjaba amatu, ennyindo n’obulago (ENT) ku ddwaliro ekkulu e Mulago, omwana atandika okuwulira ng’ali mu lubuto lwa myezi 6. Kino kitegeeza, okukuuma amatu g’omwana wo, kulina kutandika okuviira ddala ng’omukyala akyali muzito.

Dr. Amina Sseguya ng'annyonnyola.

Dr. Amina Sseguya ng'annyonnyola.

Yategeezezza nti ebintu bingi ebibeerawo ng’omukyala akyali lubuto, ne bimuviirako okuzaala omwana aliko obuzibu ku matu, nga tawulira bulungi, oba nga kiggala awedde emirimu.

Ssinga maama omuzito akwatibwa endwadde nga kabootongo, akafuba, mulangira, ssiriimu n’endala, n’ateefiirayo kugenda ku zejjanjabya, zisobola okumuviirako okuzaala omwana aliko obuzibu ku matu.

Yinfekisoni, okusesema, ebbugumu n’okwokya okuyitiridde bitera nnyo okugwira abaana abawere mu mwezi gwabwe ogusooka ku nsi, ekintu eky’obulabe ennyo eri amatu gaabwe.

Okunywa omwenge ng’oli lubuto, nakyo kireeta obuzibu ku matu g’omwana. Wabula nti, waliwo n’abantu abazaalibwa, ng’akalandira k’obutawulira kali mu ffamire yaabwe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});