Ekitongole kya NDA kikakasizza eddagala ly’amannyo erikolebwa mu mmwaanyi
Dec 15, 2022
Wuuno Henry Tusuubira 30, ow’e Lugazi-Kabisa mu Kalungu akola eddagala ly'amannyo mu mmwaanyi era ekitongole kya NDA ne kirikakasa.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya John Bosco Sseruwu
EBBANGA lyonna ekirime ky’emmwaanyi lye kimaze wano mu ggwanga, abalimi babaddenga bakoma ku kufuna mu kutunda mbisi (Kibooko), enkalu ezisunsulwa ne bafunamu kase n’obukuta okugimusa ennimiro ate abeesobola bakolamu kaawa
anywebwa ku caayi ne bakoma awo mu ngeri y’okwongera omutindo ku kirime kino.
Ebisigadde ne babirekera abazitunda ku katale k’ensi yonna gye ziyaayaanirwa okukolebwamu ebintu enkumu eby’omugaso mu bulamu bw’omuntu.
Henry Tusuubira 30, ow’e Lugazi-Kabisa mu Kalungu Town Council e Kalungu ataddewo essuubi eddala mu balimi nti oba olyawo emmwaanyi basobolera
ddala okuzeekoleramu ebintu ebirala bingi eby’omugaso nga basinziira mu bitundu byabwe ne bafunamu ekiwera ekigenda n’okubataasa ku basuubuzi abaagufuula omuze okubagulanga layisi.
Eddagala Ly’ammanyo Tusuubira Ly’akola
ENTANDIKWA
Tusuubira agamba nti mu 2012, bwe yamaliriza okusoma emisomo ‘Social Sciences’ yatandika okunoonyereza ku ngeri gy’asobola okukola eddagala mu birime n’omuddo kyokka n’asalawo okwesiba ennyo ku mmwaanyi, ebikajjo, ovacado ne soya.
OKULIMA EMMWAANYI
Nafuna yiika y’ettaka ku kyalo ne ntandika okulima emmwaanyi n’okulundirako embuzi, embizzi n’ente mwe nfuna obusa mwe nkola ebigimusa ennimiro yange.
Muno mwe naggya ensimbi ze nakozesa okugula ebyuma ebitonotono bye nneeyambisa mu kkolero lyange oluvannyuma lw’okukola okunoonyereza nga
nnyambibwako ebitabo ebikwata ku byobulamu n’abakugu abamanyirivu mu kuvumbula emigaso egiri mu birime n’omuddo.
BY’AKOLA MU MMWAANYI EDDAGALA LY’AMANNYO
Tusuubira agamba nti wadde emmwaanyi erina emigaso ntoko, naye asinga kwesiba ku
kukolamu ddagala ly’amannyo lye yatuuma ‘Tuushu Dental formula’ kubanga erimu ekirungo ekisannyalaza n’okutta obuwuka wamu n’okujjanjaba obusiwa obutono obuliikiriza amannyo.
Ekiwandiiko Kya National Drug Authority
Eddagala lino lyayisibwa mu kugezesebwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo mu ggwanga era lyakkirizibwa okutundibwa mu bifo byonna wadde enfulumya
yaalyo ekyali ntono olw’obufunda bw’ekkolero lye.
EBIRALA BY’AKOLA
l Emmwaanyi eno ngigattamu ovacado okuggyamu ebizigo (lotion) ebizigula ensusu ate nga zisigadde mu langi eya wano.
l Bwe ngattamu Soya ateekateekeddwa obulungi n’omubisi gw’ebikajjo, muvaamu eky’okunywa ekizza amaanyi mu mubiri naddala ku bantu abanafuwa oluvannyuma
lw’okunywa omwenge (Hangover), okuwagala obwongo n’okulwanyisa obutwa mu mubiri.
EKIBALO
Engula y’emmwaanyi eya bulijjo mu kitundu kino, kkiro tugitunda 7,000/- oba 8,000/- ku bbeeyi esemba okubeera waggulu, kyokka bwe njongerako omutindo mu ngeri y’okukolamu eddagala ly’amannyo oba ekyokunywa kino, kkiro emu evaamu eccupa 47 ne ntundira ku 3,000/-. Eccupa ezisookerwako wano kkiro emu yokka ngifunamu
141,000/- .Ekitegeeza nti singa tubeera tugaziyizza ekkolero akatale kagenda
kugaziwa tukozese emmwaanyi mu bungi abalimi twongere okweyagalira mu
mulimu gwaffe n’omusolo ogunaava ku byamaguzi gwongere ku nkulaakulana
y’eggwanga.
EMMWAANYI Z’AKOZESA
Tusuubira alabula nti si buli mmwaanyi gy’osanze nti ogikozesa okuggyamu ebirungo ebituukiridde.
Bino by’agoberera okufuna ekituufu okusinziira ku kunoonyereza kwe.
l Emmwaanyi zange nzirabirira n’obwegendereza okuviira ddala mu buto. Nzitangira okulumbibwa obuwuka obuyinza okuzitaataaganya nga zikula.
l Nkozesa kigimusa kya butonde ekiva mu nakavundira n’obusa bw’ebisolo. Kino emmwaanyi kigiwa emigaso 100 ku 100 kubanga tebiziteekamu bintu bikontana
n’emibiri gy’abantu.
l Emmwaanyi nnoga eyengedde yokka kubanga eba etuukiridde bulungi okumpa ekirungo ekituufu kye nneetaaga.
Ekiwandiiko Kya Nda
AB’EKYALO KYE BAGAMBA
John Vianney Ssenkungu owa LCI ku kyalo kino agamba nti, “omuvubuka ono atuwadde essuubi ng’abalimi nti singa agaziya emirimu gye n’atandika okukozesa
emmwaanyi mu bungi, naffe abazirima mu kitundu kino tuli baakufunamu kubanga akatale kagenda kutusemberera ate nga n’ebbeeyi eyeegasa.
Abafuddeyo okumulondoola tumuyigiddeko endabirira y’emmwaanyi ate nga ne ku ludda lw’ebyobulamu abantu tebakyatawaanyizibwa nnyo ndwadde za mannyo olw’obuyiiya bwe, okwewaayo n’obunyiikivu.
Abamu ku bavubuka baffe abamwekutteko abakyusizza endowooza nti nabo basobola okubaako ne bye bayiiya ebigasa ekitundu mpozzi n’essuubi nti bagenda kufuna emirimu egiwera, singa obuyiiya bwa munnaabwe buwagirwa Gavumenti.
OKUSOOMOOZEBWA KW’ASANGA
l Tusuubira agamba yeetaagira ddala okuyambibwako Gavumenti nga bwe
guli ku bayiiya mu kisaawe kya ssaayansi abalala mu ggwanga. Agamba
ebyuma ebirungi ebikozesebwa mu kunoonyereza bya bbeeyi nnyo ate nga
twetaaga okugaziya ekkolero.
lAkatale kakyali katono kubanga n’ebikolebwa bitono olw’obufunda
bw’ekkolero.
lAbalimi baffe abamu bakyetaaga okubangulwa mu nnima y’emmwaanyi
eri ku mutindo bwe tubeera baakuzikolamu ebyamaguzi ebirungi.
l Wadde Gavumenti yabunyisa amasannyalaze mu byalo, kirungi naye tusaba
n’ebbeeyi yaago eyongere okukka kisobozese amakolero amatono nga
gano okumeruka mu bitundu
No Comment