Emboozi

Okugula emigabo mu kkampuni ennene

Okugula emigabo  kubeera kusiga ssente ne zikozesebwa mu kutambuza emirimu gya kkampuni oba ekitongole ggwe n’olindirira kugabana ku magoba. Omuntu yenna akkirizibwa okugula emigabo okuva ku gumu okweyongera waggulu.

Augustine Tamale ng'ayogera.jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Musasi wa New Vision 

BW’OYOGERA ku bayinvesita, bangi balowooza ku bantu abakwata ssente okutandikawo bizinensi ez'amaanyi oba kkampuni ennene.

Okugula emigabo nakwo kubeera kusiga ssente ne zikozesebwa mu kutambuza emirimu gya kkampuni oba ekitongole ggwe n’olindirira kugabana ku magoba. Omuntu yenna akkirizibwa okugula emigabo okuva ku gumu okweyongera waggulu.

Omugabo kabeera katundu akalaga nti olina obwannannyini ku kkampuni eyo mw’oguguze.

Kkampuni yonna okutandika ebeera n’ensimbi ez’entandikwa (capital) kyokka singa bannannyini kkampuni beesanga nga beetaaga okujongeramu ssente oba okwongera ku ‘capital’ nga tebagenze kwewola, basobola okusalawo okutunda emigabo

ne bafuna ssente.

Omuntu aguze emigabo obeera ofuuse omu ku bannannyini era buli nkomerero
y’omwaka ttabamiruka atuula n’ogabana ku magoba ago agakoleddwa.

Augustine Tamale akulira ebyensimbi mu Vision Group akunnyonnyola engeri
gy’osobola okugulamu emigabo mu kkampuni oba ekitongole:

Ekitongole kya Uganda Securities Exchange kye kivunaanyizibwa ku kulung’amya kkampuni ezitunda n’ezigula emigabo mu Uganda.

Augustine Tamale Akulira Ebyensimbi Mu Kkampuni Ya New Vision Ng'ayogera Mu Ttabamiruka W'abalina Emigabo M New Vision Ow'omulundi Ogwa 20.

Augustine Tamale Akulira Ebyensimbi Mu Kkampuni Ya New Vision Ng'ayogera Mu Ttabamiruka W'abalina Emigabo M New Vision Ow'omulundi Ogwa 20.

Etteeka liragira okuteekawo ekitongole kya Capital Markets Authority ekivunaanyizibwa ku katale k’emigabo. Mu nkola ennambulukufu, ekitongole
kino kyandibadde kivunaanyizibwa ku bagula emigabo nga banene nnyo ate nga waliwo n’ekitongole ekirala ne kikola ku bamufunampola kyokka ekyo mu Uganda tekinnaba kusoboka.

Okugula n’okuteekayo kkampuni mu katale k’emigabo oyita mu mitendera mingi era bangi osanga nga balemereddwa okutuukayo.

Emigabo kye kintu ekitundibwa ng’omuguzi n’oyo atunda tebasisinkanye. Etteeka
liragira okuteekawo babbulooka (Stock Brockage Firms) abagula n’okutunda emigabo,
bano be bayunga atunda ku muguzi. Kkampuni ezikkirizibwa okukikola mu Uganda ziri ttaano zokka.

Abeera atunda emigabo olina kugenda wa bbulooka era naawe ayagala okugula ogenda
eyo. Bw’obeera ogula nga tewali atunda, olina kulindako okutuusa nga waliwo atunda.

Bbulooka bw’afuna omuguzi ne bakkaanya omuwendo gw’alina okusasula olwo ggwe
atunda nga bakuteekerayo ssente ku akawunti yo gy’ozisanga. Aguze ofuna satifikeeti ekakasa nti oguze emigabo ate eyooyo atunze n’esazibwamu.

Ekiseera kino mu Uganda emigabo bagitundira ku mutimbagano, osobola okugitunda
nga totambudde kugenda mu ofiisi ya bbulooka.

Bw’obeera olina emigabo mu kkampuni n’owulira ng’ogikooye tosobola kugiggalawo
oba okugivaamu wabula okugitunda.

Singa omwaka guggwaako, ttabamiruka n’atuula n’ayisa amagoba ge mulina okufuna
ggwe nnannyini migabo toyinza kugazira.

Bw’obeera olina emigabo mu kkampuni ne bw’ebeera eggalawo gwe osembayo okufuna ssente. Basooka kusasula bakozi, ne basasula ababadde babanja kkampuni, bwe wabeerawo emisoso emirala gyonna ne gisasulwa olwo ezifisseewo ne bwe zibeera ntono zitya, bannannyini migabo ze bagabana.

EZIMU KU  KKAMPUNI EZIRI MU KATALE K’EMIGABO MU UGANDA

l New Vision Printing and Publishing Co Ltd

l MTN Uganda

l DFCU Ltd

l UMEME Limited

lCipla Quality Chemi­cal Industries Ltd

l Uganda Clays Ltd

l British American Tobacco (BAT) Uganda Ltd

l Bank of Baroda (U) Ltd

lStanbic Bank Uganda Ltd

lNational Insurance Corporation

Tags:
okugula
emigabo
kkampuni
ennene