MINISITULE y’obulimi, obulunzi n’obuvubi, eraga nti Uganda yeetaaga ttani z’ensigo ezivaamu butto okuli ebitungo ebinene ne Soya obukadde 480 kyokka kkiro 80,000 zokka ze zirimwa kuno olwo ezisigadde ne ziggyibwa mu mawanga g’ebweru.
Ebirime by'ebitungo ebivaamu butto.
Okusinziira ku Dr. Charles Aben atwala ensonga z’okukulaakulanya ebirime mu kibiina kya National Agricultural Advisory Services (NAADS), gavumenti yatandikawo enteekateeka okutumbula okukola butto ava mu birime ng’abalimi basasula 30 ku 100 eby’ebbeeyi y’ensigo olwo gavumenti n’esasula 70 ku 100 okutuukiriza obwetaavu bwa ttani obukadde 480.
Agamba nti kyennyamiza okulaba ng’eggwanga eririna embeera ezisobozesa ebirime omuva butto okumera n’okubala obulungi nga tusobola kufulumya ebitundu 20 ku 100 eby’ebyetaagibwa byokka eggwanga ne lifiirwa obukadde bwa ddoola 370 mu kusuubula ensigo ebweru w’eggwanga ezandibadde zikozesebwa okwekulaakulanya.
Ekimuli bwe kifaanana.
Yayongeddkeo nti mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2022/2023, gavumenti yawa NAADS obuwumbi 9 okugula ensigo z’ebitungotungo ne soya ennangoseemu zigabirwe abalimi mu bitundu by’obukiika kkono bwa Uganda,” bw’agamba.
Annyonnyola nti omwaka guno baaguze ttano z’ensigo za Soya 500 ekika kya 3N ne 6N ne kkiro z’ebitungo ebinene 5,000 nga zisuubirwa okusimba yiika 37,000 omunaakungulwa kkiro obukadde 37.
Enteekateeka eno ekwataganyizibwa n’ebibiina by’abalimi n’abo abanene abalina yiika 100 n’okudda waggulu.