Bizinensi y'okukuza ennyana n'ozitunda ennyama ezza amagoba
Dec 28, 2022
ENNYANA emu agifunamu akakadde kamu n'okudda waggulu

NewVision Reporter
@NewVision
Okugula ennyana ennume ento n’azikuza n’oluvannyuma n’azitunda ye bizinensi emukoledde ssente era nga mu kiseera kino yatandiseewo n’omudaala gw’ennyama kw’atemera ente okwongera okuzifunamu ekiwera.
Jackie Tugume, mulunzi wa nte, embuzi, endiga n’ebituntu ebirala e Buhanga mu ggombolola y’e Banda mu distulikiti y’e Kyankwanzi.
Ennyana nga zitwalibwa ku muddo.
Yagambye nti enkola eno erimu ssente kuba waliwo ennyana lwe zigwa bbeeyi ne zituuka mu 300,000/- naddala mu biseera by'ekyeya ng'azirunda omwaka gumu n'azitunda okutandikira ku kakadde.
"Mu bitundu omuli abalunzi b’ente abangi, ennume tezirina makulu era bangi bazireka mu ttale zifiireyo.
Olw’okuba ennume tebazimalirako nnyo biseera, mu butale zitundibwa 350,000/- nga wano nze nalabawo omukisa gwa bizinensi mwe nsobola okuggya ssente," bw'agamba.
Yatandika n'ennyana ez'omwezi gumu n'azitwala ku ffaamu ye n'azirunda olwo n’azitunda ku mwaka gumu okutandikira ku kakadde kamu n’ekitundu n’okudda waggulu wabula oluvannyuma tandika okuzeesalira n'atunda nnyama.
Anyumya nti ennyana zino aziraawa kyokka asooka kuzirunda omwezi gumu oba ebiri nga tezinnalaayibwa ne zisooka zimanyiira ekifo we zizze n’okuzimalamu ekiwuggwe ky’okuva ku maama waazo.
"Kino nkikola kuba singa oziraawa nga zaakatuuka zisobola okukona ne zitagejja bulungi olwo ne zikulemesa okufuna ssente z’osuubira nga zikuze," bw'agamba.
Guno kati gwamufuukira mulimu era buli mwezi agulayo ennyana 50 kuba era asobola okutunda ente ezisoba mu 50 omwezi. Ono bizinensi naawe gy'osobola okukola era n'ofuna ssente.
No Comment