Ebivaako obutonde bw'ensi okutyoboolebwa n'ekirina okukolebwa

Jan 16, 2023

Abantu bangi bazimba amayumba, empya zaabwe (okuva mu kigambo ‘olujja) ne baziteekamu enkokoto mbu okwewala ebisooto,  so nga bali ku butonde bwa nsi batyoboola

By Vivien Nakitende
Journalist @New Vision

Mu wiiki ya ssekukkulu ng'eggwaako, abatuuze mu magombolola okuli; Kasankala ne Kacheera mu disitulikiti y'e Rakai, baafuna ekikangabwa olw’ennyanja Kijjanebalola okujjula n’ebooga n’eyingirira amayumba gaabwe.

Amazzi gaasalako ebyalo ebiriraanye ennyanja era abantu ne badduka mu mayumba gaabwe okudduka ekibabu ne banoonya  awalala obubudamo.

Amazzi nga gasazeeko amayumba.

Amazzi nga gasazeeko amayumba.

Bangi omusango baaguteeka ku bantu abayitiridde okutyoboola obutonde bw'ensi,  nti enkuba ne bw’etonnya etya amazzi agakulukuta tegakyalina we gawummulira olw'abantu okulima n'okuzimba mu ntobazzi ne zisaasaanyizibwawo.

Wano mu Kampala  n’ebitundu by’eggwanga ebimu,  buli enkuba bw’etonnya ebitundu bingi biyingiza amazzi,  era awamu abantu bafiira mu myala olw'amazzi okubakulukusa ne bagwamu.

Ekizibu ky'amataba bangi bakiteeka ku kutyoboola obutonde bw'ensi okusussei, abantu bangi bazimbye mu ntobazzi, bazirimiramu n'okukoleramu emirimu emirala.

Charles Muwonge, omwogezi wa minisitule y'amazzi n'obitonde bw'ensi agamba nti Abantu balina okukyusa endowooza yaabwe , baleme kulowooza ku kyaleero oba ekiriwo akaseera ako,  balowooze ne ku ky'omu maaso.

Entobazzi nga ziregamye amazzi.

Entobazzi nga ziregamye amazzi.

Abantu bangi bazimba amayumba, empya zaabwe (okuva mu kigambo ‘olujja) ne baziteekamu enkokoto mbu okwewala ebisooto,  so nga bali ku butonde bwa nsi batyoboola.

Amazzi mu bitundu ebyo gaba tegayingira mu ttaka kuba tegaba na waakuyita, okuggyako okukulukuta gabeeko gye gakung’aanira ate nga ne mu ntobazzi gye gawummulira,  bangi  balimyeyo n'okuzimba mu bisenyi, olwo ne gamaliriza nga gakomawo mu mayumba g’abantu.

Omuwendo bannayuganda kwebazaalira guli waggulu, omuwendo gw'abantu gweyongera buli lukya, bangi badduka mu byalo okujja mu bibuga, ettaka eririwo lyo teryeyongerako olwo bangi ne bafundikira nga beesenzezza mu ntobazzi.

Okutema emiti n'okusaanyawo ebibira nakyo kityoboola obutonde bw'ensi ne kireetawo ekyeya kuba kiziyiza enkuba okutonnya mu budde obutuufu. Kireeta  eddungu ne twesanga nga tufunye ebbula ly’emmere.

Abakubi ba bbulooka nabo bakoze kinene okwonoona obutonde.

Abakubi ba bbulooka nabo bakoze kinene okwonoona obutonde.

Minisitule yataddewo enkola y'okulamba ebifo by'obutonde bw'ensi omuli; entobazzi n'ebibira kye tuyita “Demarcation”  ebisinga kati  birambikiddwa bulungi okuziyiza abantu okwesenza mu ntobazzi.

Twateekawo ekitongole kiramba (department) ekya Climate Change Department mu minisitule y’amazzi n’obutonde bw’ensi, ekikola  ku nsonga z’okutereeza n’okukuuma obutonde bw'ensi. 

Muwonge yasabye Bannayuganda bonna okukwasiza awamu okukuuma obutonde kuba bafubye okutegeeza abantu n’okubakubiriza okusimba emiti mu bitundu by'eggwanga eby’enjawulo

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});