Ebirime by’oyinza okulima n’ofuna ssente mu nnaku 21 zokka

Mar 08, 2023

Omulimi n’omulunzi okyasobola okweteekateeka okufuna ku ssente z’okweyimirizaawo ng’olina n’okulima ebintu ebikula amangu osobole okufuna akasente.

NewVision Reporter
@NewVision

NG’EMBEERA ya ssente ekyakaluba ng'ate n’ennaku enkulu zisembera, omulimi n’omulunzi okyasobola okweteekateeka okufuna ku ssente z’okweyimirizaawo ng’olina n’okulima ebintu ebikula amangu osobole okufuna akasente.

Bbiring'anya Ng'ono Akula Amangu.

Bbiring'anya Ng'ono Akula Amangu.

Harriet Nakabaale owa Camp Green e Kawaala omukugu mu kulima enva endiirwa ate n’okulimira awafunda agamba nti bw’osimba enva endiirwa zisobola okukula amangu era n’ofuna ssente mu bwangu.

 Singa ettaka oba olirabiridde bulungi era nga olitaddemu ekigimusa, osobola okukungula ddoodo, ebbuga n’ejjobyo mu nnaku 21 zokka.

Wabula gwe ayagala ensigo z’enva endiirwa zino zimere mangu, osobola okuzinnyika mu mazzi olunaku lumu nga kino kiziyambako okufuna obunyogovu obumala okuva mu ttaka era nezimera mangu.

Atugonza Ng'alaga Bw'afuna Mu Nva Endiirwa Z'alima.

Atugonza Ng'alaga Bw'afuna Mu Nva Endiirwa Z'alima.

Sukumawiiki, sipinaki n’obutungulu obw’ebikoola bitwala ennaku 30 n’okungula

Obutafaananako nga ebbanga eriyise Bannayuganda lwe batajjumbiranga kulya sukuma na sipinaki, ensangi zino batandise okubirya era ggwe ayagala okufuna ssente ez’amangu okuva mu kulima osobola okubyekwata. Bino mu mwezi gumu oba otandise okunoga olwo n’otwala ebbanga eddala nga lya mwaka mulamba n’ekitundu nga okyanoga ku kikolo kye kimu. 

Obutungulu obw’ebikoola nabwo butwala ennaku 30 n’otandika okunogako wabula olina kuba nga wasimba ndokwa yaako.

NakatiGwe ayagala okusimba Nakati ojja kugumiikiriza emyezi ebiri gyokka okukungula n’okufa ssente. Nakati owaffe omuganda akungulwa omulundi gumu kubanga ye okuula mukuule wabula waliwo ekika kya ‘big leaf’ kino kyo okungula nga osala busazi era nga bwe kireeta amatabi. 

Eno ye nsonga lwaki oluumu abalimi bw’enva endiirwa batera okutabika ebika eby’enjawulo mu kifo kimu.

Obutungulu ; Obutungulu bw’ebikoola bubeera n’akatale nga bukulira wakati w’ennaku 20-30 ate obw’ebimmonde wansi bukulira mu nnaku 75-90.  Buno obuyiira beedi n’oluvannyuma n’obusimbuliza okubuzza mu nnimiro ennene. Obw’ebimmonde bwetaaga ebigimusa okusobola okugejja era mu yiika okungulamu ttano 15-20 nga buli kkiro ya 1,500/-. Ofuna 22,500,000 oba obukadde 30.

Entula ne bbiring’anya; Zino zibeera n’akatale ka maanyi mu kaseera k’akasana ke tuyingiramu era zirinnya bbeeyi ne batandika kuzibalira ku ngalo. Entula ssatu zitundibwa 100/- ate biring’anya kimu 200/- oba oluusu ne 500/-. Bikulira wakati w’ennaku 70 ne 85 okuviira ddala mu nassale etwala ennaku 20.

 

 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});